Akabenje katuze abaana ne maama

Dec 28, 2023

ABAANA bana ne maama bafiiridde mu kabenje ddekabusa, mmotoka mwe baabadde nga bava okucakala ku Ssekukkulu bw’egaanye okusiba n’ewanuka ku lusozi ne yeevulungula emirundi egyasobye mu 20.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Ponsiano Nsimbi

ABAANA bana ne maama bafiiridde mu kabenje ddekabusa, mmotoka mwe baabadde nga bava okucakala ku Ssekukkulu bw’egaanye okusiba n’ewanuka ku lusozi ne yeevulungula emirundi egyasobye mu 20.

Akabenje kano okugwawo, abaana bano ne maama nga ba famire 3 ez’abagagga aboomukwano okuva mu Wakiso baabadde mu bitundu by’e Kapchorwa nga bavuga badde e Kampala okuva mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

Abagenzi kuliko: Gorreti Najja 35, abadde omutuuze w’e Kiwumu - Kalambi ng’ono yafudde ne mutabani we Ivan Busuulwa 10, Solomon Kibirige mutabani wa Moses Musiitwa ow’e Ssumbwe ku lw’e Mityana owa Reliance Real Estate, nga bano babadde bayizi ba Buddo Junior School, abalala ye Isabela Isabit 8 ne Okia Mark 10 nga bano batabani b’omupunta Robert Oringa ow’e Kisubi ku lwe Ntebe.

Steven Kayiwa, omu booluganda lwa Busuulwa yategeezezza nti bano babadde balina enkola ey’okutambulira awamu buli Ssekukkulu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bali wamu ne famire zaabwe era nga baasimbudde December 23, okwolekera Kapchorwa gye baaliiridde Ssekukkulu.

Emmotoka Ekika Kya Prado Land Cruiser Nnamba Ubj074 Gye Baabaddemu.

Emmotoka Ekika Kya Prado Land Cruiser Nnamba Ubj074 Gye Baabaddemu.

Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 10:30 ez’akawungeezi ku kyalo Towei okuliraana ebiyiriro bya Sipi Falls e Kapchorwa ku Lwokubiri nga December 26, mmotoka mwe baabadde batambulira Prado Land Cruiser UBJ 074, bwe yagaanyi okusiba ne yeevulungula n’esibira mu luwonko.

John Okello, eyabaddewo ng’akabenje kano kagwawo yategeezezza nti Najja yafudde atwalibwa mu ddwaaliro e Kapchorwa ate abaana bo bonna baafiiriddewo.

Kyategeerekese nti abantu bano baabadde mu lugendo nga bava e Kapchorwa gye baabadde nga balambula mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

Okello yagambye nti akatundu k’e Towei kamanyiddwa ng’akasinga okugwamu obubenje mu kitundu ekyo.

Abasuubuzi b’ettaka amawulire g’okufa kwa muka munnaabwe n’abaana beesombye okugenda mu maka gaabwe okubakubagiza ng’e Buloba ku ofiisi za Robert Busuulwa owa Liranda Property Consutant, baakuhhaanye okukola ku nteekateeka z’okuziika nga ne mu maka ge e Kiwumu – Kalambi abakungubazi beeyiye mu bungi okumubudaabuda.

Musiitwa olumbe yalukumye ku biggya e Kikonge ku lw’e Mityana gye bagenda okuziika mutabani we leero (Lwakuna).

Samuel Ntulage, taata wa Musiitwa nga naye musuubuzi wa ttaka yagambye nti bafunye ekikangabwa ky’amaanyi okufiirwa abazzukulu ne mukyala wa munnaabwe mu kabenje kano era ng’ono yalambuludde n’engeri gye bagenda okukungubagiramu abagenzi.

Abaasimattuse kuliko, Ivy Busuuulwa 7, Ivan Busuulwa 14, Innocent Busuulwa 18 eyabadde avuga mmotoka eyasse abantu ne Caleb Kagimu, mutabani wa Musiitwa ng’ono yakutuse okugula nga mu kiseera kino ali mu kujjanjabirwa mu ddwaaliro e Mengo.

 

BAGENDA KUKUNGUBAGA OKUTUUKA KU MMANDE

Kayiwa yagambye nti emirambo gyakwasiddwa kkampuni ekola ku by’okuziika ng’eno gye bagenda okugiggya okugitwala okugiziika nga baakutandika na mwana wa Musiitwa leero (Lwakuna) e Kikonge ku lw’e Mityana.

Ku Lwokutaano baakuziika mutabani wa Busuulwa e Kasalaga Zigoti ku lw’e Mityana. We bwazibidde nga bakyali mu nteeseganya ne famire y’omukyala wa Busuulwa okulaba oba bayinza okukkiriza aziikibwe ne mutabani we yadde nga tabadde mugatte mpeta.

Kino bwe kinaagaana, ono aba waakuziikibwa e Namulonge, ate abaana b’omupunta Oringa olumbe lwakumiddwa mu maka ge e Mpala ku lw’e Ntebe kyokka ng’ekifo ekituufu we bagenda okuziikibwa n’olunaku byabadde bikyatankanibwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});