Ab'obuyinza e Ssembabule bayimirizza okutambuza ebisolo olw'ekirwadde kya Kalusu

Dec 31, 2023

Ab'obuyinza mu disitulikiti  y'e Sembabule bavuddeyo ne bawera okutambuza ebisolo byonna oluvanyuma lw'ekirwade ky'akalusu kweyongera mu kitundu.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Kintu Noah
 
Ab'obuyinza mu disitulikiti  y'e Sembabule bavuddeyo ne bawera okutambuza ebisolo byonna oluvanyuma lw'ekirwade ky'akalusu kweyongera mu kitundu.
 
Ekirwade kino kyabalukawo mu disitirikiti wiiki 2 emabega era ab'obuyinza n'ebasiba obutale bw'ente wabula n'ebakkiriza abalunzi n'abasuubuzi okusigala nga batikira ente nga basinziira ku faamu zaabwe nga bw'ebetegereza embeera naye wiiki zino weziwerede nga obulwade bweyongede olwo kw'ekusalawo okussaawo amateeka amalala agavirideko abalunzi n'abasuubuzi nga balaajana.
 
Tusobode okutuukirira abalunzi n'abasuubuzi bano okumanya embeera gy'ebayitamu mu kadde kano ne batutegeeza nga bwebasobedwa kuba kati basibide ddala obutadamu nakuttira ku faamu obwavu bwakubaluma nnyo nga ate n'abaana bali kumpi kuddayo ku masomero bano basabye gavumenti ebafunire eddagala bageme ebisolo byabwe.
 
Brig. Gen. Stephen Gava ono nga yakwanaganya enkola ya NADDS e Sembabule ategeezeza nti ekiremesezza kalusu mu mu kitundu z'empisa embi abantu z'ebalina kwoteeka n'obulyake mu bakwasisa amateeka.
 
Akulira ebisolo mu disitirikiti dokita Ssali Anjero awade abantu amagezi kungeri gy'ebalina okw'ekuuma.
Asabye abalunzi obutaleeta nte mpya mu kitundu,akubirizza abantu okubawa amawulire amangu ddala nga balabye ente ezirwade basobole okuziyiza endala okwatibwa.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});