Bya Eric Yiga
MAAMA ow’abaana ababiri ku kyalo Ssaza ekisangibwa mu Mukono Central division asobeddwa oluvannyuma lwa muwala we ow’emyaka esatu okuzaalibwa n’akatulutuutu ku kigere ssaako n’omukono oluvannyuma n’atandika okuvunda omubiri gwonna.
Bano tubasanze mu kazigo mwe basula ng’omwana ono ali mu maziga nga yenna alenya olw’amabwa agajjudde ku mubiri gwe ssaako n’akamwa.
Nabwire wakati mu maziga ategeezezza ng’oluvanyuma lw’okuzaala muwala we ono ku lunaku olwasookera ddala abasawo baalaba amabwa abiri (2) ku kuggulu ssaako n’omukono era ng’ono baamuwa ekitanda ku ddwaaliro lya Mukono General Hospital gye yamala wiiki bbiri.

Omwana Nga Yenna Ajjudde Amabwa Omubiri Gwonna.
“ Bwe nazaala omwana ku ddwaaliro lya Mukono General Hospital ono ono yalina obubwa era abasawo bagenda mu maaso okumujjanjaba okumala wiiki bbiri nga tuli ku kitanda, wabula twagenda okulaba ng’omwana atandise okufuna ebitulututtu eby’enjawulo wabula nga buli kye batulisa kivaamu omusaayi ne bitandika okubuuna omubiri gwonna, n’okutuusa olwaleero.”
Ono agamba nti mu kiseera kino asobeddwa kuba atunze buli kimu mu nnyumba okusobola okulaba ng’ajjajjaba muwala we byonna bigaanye, kyokka ng’embeera ya muwala we eyongera kwonooneka.
Alaajanidde Maama Suzan Makula Bujjingo ssaako n’omusumba Alyosius Bujjingo wamu n’abazirakisa okuvaayo bamuddukirire okusobola okulaba nga muwala we afuna obujjajjabi.
“ Nze tewali ddwaaliro lye sitambuddemu buli gyebasindika naye omwana wange agaanye okuwona, n’okutuusa kati simanyi kiruma mwana wange kubanga ekirwadde nga kino nze mbadde sikirabagako, ebigere bimu byekwata wamu ate ebirala bifufunyadde, ng’ekiro kyonna asula okutuusa ku mankya.”
Ronald Lubega nga mukubi wa bifaanannyi mu kibuga Mukono ng’ono y’omu ku baasooka okulaba omwana ono agamba nti mu kusooka yalowooza nti omwana ono yali ayokedddwa kyokka oluvannyuma lw’okutuula ne nnyina n’amunyonyola saako n’okumulaga ebbaluwa z’amalwaliro agenjawulo, yatandika okutambula ng’abanoonya obuyambi,era nga naye alaajanidde abazirakisa okuvaayo badduukirire omwana ono kuba embeera ye mbi.
Rosemary Nabanja ne bba Isaya Kafeera nga be bannannyini nnyumba mukyala ono kw’ampagisa batubuulidde embeera omumpagisa waabwe gyawagaaliramu ssaako n’okusoomoza gwaliko nga n’olumu balowooza nti tatuuse kiseera kino, era basabye abazirakisa okuvaayo bayambeko ffamire eno.
Bo abatuuze bagamba nti singa omwana ono takwatizibweko, bazadde be badimufirwa nga noolwekyo yeetaaga kuyambibwa.
Alina obuyambi kuba ku 0707429384.