Naweereza baze ssente z’ekyeyo n’awasaamu omugole

Feb 24, 2024

ABAGENDA okukuba ekyeyo tusanga okusoomoozebwa okwenjawulo kyokka tuguma okusobola okufuna akasente.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

Bya KHASIFAH NAAVA

ABAGENDA okukuba ekyeyo tusanga okusoomoozebwa okwenjawulo kyokka tuguma okusobola okufuna akasente.

Nze Racheal Birungi 31, nga mbeera Kyetume mu Mukono. Mu 2016, nafuna omusajjaeyansuubiza ensi n’eggulu okukkakkana nga tugudde mu mukwano, ekyaddako kutandika bufumbo.

Wadde embeera ye teyali nnungi mu byenfuna, nasalawo nfumbe kubanga yali amaze n’okunfunyisa olubuto. Olwazaala, bbebi aba aweza emyezi musanvu ne nfuna olulala!

Omwaka 2018 we gwaggweerako nga mu butuufu embeera mu maka ga enzibu ddala era omwami ye yaleeta ekiroowozo tugobe ku by’okugenda kwange mu kiyumba tusobole okukyusa ku mbeera.

Nasooka kugaana ne mugamba y’aba agenda era twasooka kugoba ku bibye wabula ne bigaana.

 

Twasalawo ne ngezaako, ekirungi ebyange ne biyitamu. Omukyala eyali antwala yatusaba obukadde busatu nga tetuzirina. Nagendako ewa Seeka wange e Nabweru n’annombera ku dduwa okugonza omutima gw’omukazi ono antwale era akkirize ssente entono ze twalinawo, era bwe kyali.

Omukazi namuwa 1,700,000/- n’asooka n’aηηamba nti Viza yange bw’ejja nnina okufuna 300,000/- ez’okumpisa ku kisaawe nga tebantawaanyizza.

Wabula yaηηamba nga bwe nninda viza nfune yellow book, ηηende ne ku musaayi. Ebyo byammalako 150,000/-.

NGENDA E SAUDI ARABIA

Waayitawo wiiki bbiri nga viza ezze ne ηηenda e Saudi Arabia, era Covid agenda okujja nga nze ndi mu kiyumba nkwazza mirimu.

Ekiyumba mwe natuukira tekyali kirungi nnyo naye ne ηηuma. Okuva e Uganda twalagaana ne taata w’abaana nti nkole nga ssente nzimusindikira alabirireko abaana ba e, tuguleko poloti entonotono, tuzimbeko emizigo mwe tunaggyanga ez’omwezi.

Abawalabu ku Iddi zaabwe basanyuka nnyo era buli muntu ajja awaka abasinga bawa bakadaama ebirabo omuli ssente, engoye n’ebyokulya, naye ssente ze basinga okugaba.

Era mu lunaku olumu osobola okufuna emitwalo 80 nga bazimuwadde ng’ekirabo (ADIYAH).

BULI SSENTE GYE NAKOLANGA NGA MPEEREZA TAATA W’ABAANA OKUMALA EMYAKA 4

Naterekanga obusente bwange nga buli bwe mpezaawo obukadde busatu nga mbusindikira omwami wange.

Omwaka bwe gwaggwaako be nali nkolera baatandika okumpisa obubi. Nakubira ku Seeka wange ow’e Nabweru abaη ηondeze emitima. Yansabayo enjiibwa emu n’olugoye olweru nga byonna n’ezobukozi namuwa 700,000/-.

Bwe namala okuzimusindikira embeera yatereeramu naye waayita akaseera katono n’eddamu n’etabuka.

Nasalawo okuguma ne nkola nga bwe mpeereza ssente ewa taata w’abaana era mu butuufu siyinza na kukubuulira muwendo gwa ssente ze namuwa, kubanga
namalayo emyaka ena nga zonna bwe nzifuna bwe nzimuweereza.

Bwe nali nnaatera okumalako kontulakiti yange, nasindikako mwannyinaze agende alabe ku baana bange alabe ne ku nnyumba omwami wange z’azimba
ez’emizigo.

Nawunga okuzuula ng’awaka waliwo omugole ali olubuto

Kyambuukako mwannyinaze bwe yankubira essimu ng’atuuseeyo ng’aηηamba nti abaana weebali naye waliwo ne maama waabwe ali lubuto. Awo we nakoma okutegeera, nagenda okudda engulu nga ntudde ku toyireeti, kubanga eno gye
nakubiranga ku ssimu mu budde bw’emisana.

Nalowooza kye nnyinza okukolera omusajja ne kimbula. Nakaaba ne nkoowa.
Nayongezaayo kontulakiti omwaka omulala gumu, bwe gwaggwaako ne nkomawo.

Ekyannyamba we nakomerawo nga mmaze okwejjanjaba omutima. Nafuna
omulimu mu ofiisi emu gye nkolera era nnina omusajja ali mu kunjogereza naye
siyinza kuddamu kwesiga musajja n’omutima gwange gwonna.

Amagezi ge mpa bawala bannange abali ku kyeyo, kola ssente nga ozeeterekera
bw’okomawo weekoleremu ky’oyagala.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});