Paasita Bugingo eyakubwa amasasi ku ntandikwa y'omwaka akubagizza nnamwandu wa Lwomwa

Feb 27, 2024

OMUSUMBA wa House Of Prayer Ministries International Aloysius Bugingo eyakubwa amasasi ng'ali mu mmotoka ye ku ntandikwa y'omwaka guno akubagizza nnamwandu w'omugenzi Lwomwa naye eyagakubiddwa amasasi n'afiirawo ku Ssande akawungeezi.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Peter Ssuuna

OMUSUMBA wa House Of Prayer Ministries International Aloysius Bugingo eyakubwa amasasi ng'ali mu mmotoka ye ku ntandikwa y'omwaka guno akubagizza nnamwandu w'omugenzi Lwomwa naye eyagakubiddwa amasasi n'afiirawo ku Ssande akawungeezi.

Bugingo asaasidde Gladys Bbosa olw'okuviibwako omwami abadde omukulembeze w'ekika kyokka ne yeewaayo n'okuweereza Omukama era asinzidde wano n'abasabira essaala bakira n'abawa n'ennyiriri z'okusoma ng'ajuliza Ekitabo Ekitukuvu.

Paasita Bugingo Ng'asabira Nnamwandu Wa Lwomwa Bbosa Eyakubiddwa Amasasi Ng'atuuka Mu Makaage N'afa.

Paasita Bugingo Ng'asabira Nnamwandu Wa Lwomwa Bbosa Eyakubiddwa Amasasi Ng'atuuka Mu Makaage N'afa.

Omugenzi Lwomwa yalondoddwa abatemu okuva e Mukono gye yabadde okutuusa lwe baamusindiridde ebyasi ebyamusse ng'atuuka mu maakage e Lungujja, Kikandwa Zzooni mu Lubaga.

Omu ku batemu Enock Sserunkuuma yagobeddwa aba bodaboda naye ne bamumiza omusu omulala apooca na bisago mu ddwaaliro e Mulago nga bw'ajjanjabibwa alinde okukunyizibwa.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});