OBWAKABAKA bwa Buganda butongozza enteekateeka ya Bulungibwansi mu baana b’amasomero mu Buganda n’ekigendererwa eky’okuzza ennono n’enkola ya Bulungibwansi mu bantu ba Buganda.
Enkola eno yatongozeddwa minisita wa Kabaka owa Bulungibwansi, Obutonde bw’ensi, amazzi wamu n’ekikula ky’abantu, Mariam Mayanja Nassejje, nga gwabadde ku ssomero lya Good Times Infant School Kawaala.
Minisita yasoose kukulemberamu okuyonja ekitundu kya Kawaala okwetabyemu n’abakungu b’e Mmengo abalala nga beegattiddwaako abayizi b’ekibiina kya Bulungibwansi okuva mu masomero ag’enjawulo okwabadde Good Times, Joy and Jolly okuva e Mukono Kyaggwe, Kawaala High School, Kireka High School, Makerere College n’amalala.
Omumyuka asooka owa Kaggo era dayirekita wa Good Times, Ronald Mpagi, yagambye nti emiti emito gye giggumiza ekibira ekitegeeza nti abantu bwe babeera baakuyigirizibwa enkola ya Bulungibwansi kirungi nnyo okutandikira mu