Poliisi eyigga omuwala agambibwa okukakkana ku muganzi we n'amufumita ebiso ebimusse
Mar 05, 2024
Poliisi eyigga omuwala agambibwa okukakkana ku muganzi we n'amufumita ebiso ebimusse

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Godfrey Kigobero
Poliisi ekyayigga omuwala agambibwa okukakkana ku muganzi we n'amufumita ebiso ebimusse.
Prossy Ampire y'ayiggibwa ku by'okutta David Lugemwa 33 omusuubuzi ate nga mutuuze w'e Nansana zooni mu Wakiso . Ampire kigambibwa nti aliko wooteeri omu mw'abadde akolera ..
Wiiki nga bbiri amabega, Ampire yatuuse mu kifo, Lugemwa w'abeera ku Yesu Amala era ne babeera bombi wakati mu kuyombagana.
Kigambibwa nti ababiri bano, baludde nga balina obutakkaanya mu bufumbo bwabwe era babadde bayomba n'okulwana buli kiseera okuviira ddala e Nankuwadde gye baasooka okubeera.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti , Lugemwa abadde aliko omuwala omulala Athen Najjuuko gw'aganza era bwe yakomyewo nga buyise, ne batandika okulwana ne Ampire .
Ayongeddeko nti omuwala yasoose kwekebeza lubuto nti bwe yazudde nga temuli , kwe kugula ebiso bisatu n'akozesaako kimu kye yamufumisizza n'abulawo n'essimu y'omugenzi era nga bamuyigga.
No Comment