AKAKIIKO ka Palamenti akakwasisa empisa kataddewo wiiki bbiri okusala eggoye ku musango omubaka omukyala ow’e Rakai gw'avunaana Francis Zaake nti yamutyoboola mu maaso g’abalonzi be.
Leero akakiiko kazzeemu okutuula oluvannyuma lwa wiiki bbiri omubaka Zaake ze yasaba okunoonya looya omulala oluvannyuma lwa looya we Erias Lukwago okwecwancwana n'ava mu kakiiko ke yalumiriza nti kaali keekubidde oludda nga tekamuganya kwokya muwaabi bibuuzo.
Akakiiko akakubirizibwa omubaka w’e Bugweri, Abdul Katuntu kabadde kayise enjuyi zombi wabula Kinyamatama talabiseeko era bakanye kukuba ku masimu ge nga takwata yadde nga abajulizi be bbo babaddewo.
Kantuntu agambye tebasobola kugenda mu maaso nga Kinyamatama taliwo era n'asalawo nti ensonga eno erina okuggwa mu wiiki bbiri, n'alagira kalaani w’akakiiko okuwandiikira Kinyamatama abaanukule nga baakuddamu okutuula ku Lwokuna.
Agambye mu bbanga lye bataddewo, omuntu anaaweebwa olunaku n'atalabikako bbo bajja kugenda maaso n’okumaliriza ensonga eno kubanga bagikooye mu ddiiro.
Zaake ayogedde
Zaake agambye nti kyandiba nga akakiiko nako ensonga zikayinze kubanga ye bw'atabawo ate Kinyamatama abaawo nti nga n’obutabaawo bwa munne kyandiba nga yawanise n’abivaako bakole ku nsonga endala eziyamba eggwanga nga okwekenneenya amateeka.
Agambye eky’ennaku asaasaanya ensimbi ku looya we nga n’okumukomyawo lwabadde lutalo wabula nga kati mugumu nti teyamulekeredde era n'asalawo okudda nga asuubira nti byonna ebiriwo bigenda kuggwa bulungi okusinziira bw'abirabamu.