Ab'e Luweero bajjumbidde okutambuzza ekkubo ly'omusaalaba

Mar 29, 2024

ABAKULISITU mu ssaza Kasana lya Luweero batambuza omusaalaba ne bakubirizibwa obutatwala mukolo guno nga musono wabula beefumiitirize ku kubonaabona n'okufa kwa Kristu eyajja ku lw''abonoonyi beenenye ebibi.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULISITU mu ssaza Kasana lya Luweero batambuza omusaalaba ne bakubirizibwa obutatwala mukolo guno nga musono wabula beefumiitirize ku kubonaabona n'okufa kwa Kristu eyajja ku lw''abonoonyi beenenye ebibi.

Bwanamukulu wa Kasana cathedral parish Fr Denis Sebuggwaawo y'akulembedde okutambuza omusaalaba n'ategeezezza nti Katonda teyayagala bantube kuzikirira n'asindika omwanawe abafiiririre n'asaba abeetabye mu kutambuza omusaalaba okwenenya ebikolwa ebikyamu Katonda byatayagala.

Ab'e Luweero nga batambuza ekkubo ly'omusaalaba

Ab'e Luweero nga batambuza ekkubo ly'omusaalaba

Viika genero w'essaza lya Kasana Luweero Msgr Ekizevia Francis Mpanga n'abala beetabye mu kutambuza omusaalaba.  Baasimbuse ku keleziya e Kasana ne betoloola enguudo mu kabuga k'e Luweero nga bwe bayimba ennyimba ezitenereza katonda n'kusoma ebyawandiikibwa nga bebuulirira ku kubonaabona n'okufa kwa Kristu.

Oluvannyuma bazzeeyo mu keleziya e Kasana ne basaba essaala ezaakomekkerezza omukolo ne basaba abakulisitu okunywerera ku Kristu.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});