AB'OBUYINZA e Kalungu bawaliriziddwa okuggala essomero olw'omujjuzo gw'amazzi agaalisazeeko ekirese abayizi abasoba mu 500 n'abazadde nga basobeddwa eky'okuzzaako.
Essomero erigaddwa nga wadde ttaamu tennaggwako ye Kamuwunga Primary erya Gavumenti erisangibwa mu Lwera okumpi n'ennyanja Nalubaale mu Lukaya Town Council.
Sylivia Nakanwagi akulira eby'enjigiriza e Kalungu yategeezezza nti amazzi agagambibwa okuva ku mujjuzo gw'ennyanja gaasazeeko olujja lw'essomero lino lwonna ne gayingira ne mu bibiina munda.
Yayongeddeko nti mu ngeri yeemu gaasazeeko ne kaabuyonjo z'abayizi n'abasomesa ekyaviriddeko obubi okwetabulamu ne kitekawo okutya nti wandibalukawo endwadde eziva ku bucaafu,kwe kusalawo embagirawo abaana bigira badda ewaka nti nga bwe basala entotto ku ky'okuzaako.

Essomero liri mu mazzi
John Mutagubya akulira olukiiko lw'abazadde ku ssomero lino yategeezezza nti mu kiseera kino bali mu kusoberwa wa abayizi gye bagenda okukolera ebigezo nti kubanga amasomero agabaliraanye gali Nabyewanga ne Lukaya olugendo lw'agamba nti lwa wala nnyo ku baana n'abazadde abateesobola.
Wabula DEO Nakanwagi yagumizza nti baamaze dda okuwandiikira bekikwatako mu minisitule y'ebyenjigiriza nga mu kiseera kino balinze kwanukula okuva gye bali.
Amyuka Ssentebe wa Disitulikiti y'e Kalungu Gerald Kigundu n'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo nabo baalambudde embeera y'omujjuzo guno ne balaga okutya nti n'ebizimbe by'essomero lino byennyini binafuye olw'enjatika ezitandise okweraga mu bisenge nti ekibadde kyongedde okuteeka obulamu bw'abayizi n'abasomesa mu mattiga.