EKITONGOLE kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni, ebitongole n’ebiyiiye mu ggwanga ekya Uganda Registration Service Bureau (URSB) kiwabudde Bannayuganda abatandika n’okuyingira bizinensi bafube okulaba nga batuukiriza ebisaanyizo ebisookerwako naddala okwewandiisa nakyo kibayambe okuganyulwa pulogulaamu za gavumenti.
Zeuse Kizza, omukungu okuva mu URSB, yategeezezza nti emiganyulwo mingi egiri mu kuwandiisa bizinensi okugeza; kisobozesa nnannyini bizinensi okukwatagana n’abalala abali mu bizinensi, okufuna obwannannyini ku mannya gaabwe, okusobola okufuna kontulakita mu bitongole bya gavumenti okwo gattako okusobola okwewala okucupulwa kw’ebintu bye bakola bwatyo n’abakubiriza okwewandiisa. Bino yabyogedde mu lukung’aana lwa bannamawulire mwe baayanjulidde omukago gwe baakoze n’ekitongole