Bannabyamizannyo bakungubagidde omugenzi Fred Kajoba

Silvano Kibuuka
Journalist @Bukedde
May 19, 2024

Abaaliko abasanbi b'omupiira, abatendesi, abakulira amakiraabi, abakungu ba FUFA wamu n'abenganda n'enikwano kata bajuze lutikko e Rubaga okusabira omugezi Fred Kajoba.
Kajoba (55) yafiiridde mu ggwanga lya Tanzania ku Mmande gy'abadde atendeka omupiira mu ttiimu ya Ihetu FC mu kitundu kya Singida.
Omugenzi yafiiridde mu ddwaliro e Mbeya okusinziira ku mutendesi Matia Lule bwe babadde mu tiimu eyo.

Aba famire nga bassa ekimuli ku mulambo gwa Fred Kajoba

Aba famire nga bassa ekimuli ku mulambo gwa Fred Kajoba


Lule:
Ono alombojjedde ababadde mu kusaba engeri munne gye yatabukidde mu kitundu kya Mbeya gye baabadde bagenze okukyalira ttiimu ya Mbeya FC mu liigi nga kyesudde kiromita 900 omuva e Singida.
"Yalina ekirwadde kya sukaali ne puleesa era nga bye byatabuka ne tumuddusa mu ddwaliro er'okumpi era ne batwongerayo mu ddene gye yafirudde," Lule bwe yategeezezza.
"Namuleka n'abasawo b'eddwaliro n'owa ttiimu yaffe wabula we twaddidde ng'asigadeko kikuba mukono era abasawo ne batutegeeza nti akutuse," Lule bwe yayongeddeko.

Bannabyamizannyo nga bateeka ekimuli ku Kajoba

Bannabyamizannyo nga bateeka ekimuli ku Kajoba


"Yampa obubaka eri nnamwandu Jackiline Kajoba nti akuume abaana are nti tewabangawo amugoba ku ttaka. Obulala yakuutira muwalawe omukulu, joanita Kajoba okubeeea omusaale okukuza banne
ate obulala n'antuma mbuwe pulezidenti wa FUFA Ying. Moses Magogo era nja kubumutusaako," bwe yayongedde okulambika.
Yakwasizza aba famile sappule Kajoba gye yalaamidde omu ku bawalabe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});