Abasiraamu bajjukidde omulangira Nuhu Mbogo

Jul 01, 2024

ABASIRAAMU bajukidde nga bwe giweze emyaka 129 bukya omulangira Nuhu Mbogo Kyabasinga ava mu buwang’anguse e Zanzibar.

NewVision Reporter
@NewVision
ABASIRAAMU bajukidde nga bwe giweze emyaka 129 bukya omulangira Nuhu Mbogo Kyabasinga ava mu buwang’anguse e Zanzibar.
Omukolo ogwetabyeko abasiraamu okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’amawanga g’omuliraano nga Kenya ne Zanzibar gwabadde ku muzikiti e Kibuli.
Aboogezi ab’enjawulo baatenderezza obuvumu n’okwagala Mbogo bwe yayolesa ng’alwanirira Obusiraamu ekyaviirako Capt. Lugard okumuwang’angusa e Zanzibar.
Sheikh Hamid Tamusuza yagambye nti Mbogo eyali mutabani wa Ssekabaka Ssuuna II yazaalibwa nga ye Ssimbwa, kyokka abantu ne bakyusa erinnya lye ne bamutuuma Mbogo olw’obumalirivu bwe yalina ng’alwana nga mbogo.
Loodi Meeya Erias Lukwago n'omumyuka owookubiri owa Supreme Mufti Sheikh Mahad Kakooza

Loodi Meeya Erias Lukwago n'omumyuka owookubiri owa Supreme Mufti Sheikh Mahad Kakooza

Bwe yali ava mu buwang’anguse aliko ebintu bye yasaba Abasiraamu okukolebwa omwali; okubakkiriza okusala ebisolo mu lubiri n’ebweru waalwo. Baalina okwambala enkofiira ku mutwe awatali kukugirwa n’okwaziina mu lujjudde nga bagenda okusaala.
Regional Khadi wa Lango, Sheikh Yusuf Muhamad Balinda yasabye ebikujjuko by’amadda ga Mbogo bikuzibwe mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, kisobozese abantu okumanya ebyafaayo by’obusiraamu.
Supreme Mufti wa Uganda, Sheikh Muhammas Shaban Galabuzi yasabye Bannayuganda okuwagira Pulojekiti z’okwekulakaulanya ze balina. Yalangiridde nga bwe bagenda okutandika okuzimba ekizimbe ky’ebyobusuubuzi kya myaliiro ena e Kyanja.
Jajja w’Obusiraamu, Omulangira Khassim Nakibinge ng’era muzzukulu wa Mbogo yajjukizza abantu ebyafaayo bya jajjaawe n’agamba nti bwe yali e Zanzibar yalaba Abazungu gye basaanyawo obwakabaka bwayo era bwe yakomawo teyayagala kuddamu kulwana ntalo.
“Eno y’ensonga lwaki olumu tusalawo tukole ebyaffe n’oli n’akola bibye. Oli ayinza okubateeka mu ntalo ezitaggwa gye biggweera nga babasseemu bannammwe abawera. We yajjira nga buli muntu atunula wuwe ng’asaala era n’alung’amya ku gye balina okutunula era lyandiba ng’erinnya Kibuli lyafa mu Kibra kuba mu Luganda tekiriiyo” Nakibinge bwe yagambye.
Endagaano ya 1900 yawa Mbogo ebifo ebiwera nga; Kibuli, Kawempe ne Mbogo. Yawaayo ku kasozi waggulu wazimbibweko ennyumba ya Allah ye n’asalawo amaka ge okugateeka wansi mu kikko.
Yeebazizza abantu abayimiridde ne Kibuli ebbanga lyonna kuba bazze babeera n’abantu ababetoolodde nga tebalina kalungi ke babaagaliza.
Omukolo gwetabyeko abantu bangi okwabadde; omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Twaha Kaawaase, omumyuka wa Sipiika wa Buganda Ahmed Lwasa, Pulof; Badru Kateregga owa Kampala University, Pulof. Badru Kiyimba, Polof. Umar Kakumba, Polof. Gyagenda Musisi akulira IUIU, Loodi Meeya Erias Lukwago, Abubaker Kawalya (Lubaga North), Hassan Kirumira (Katikamu South), Abdallah Kiwanuka (Mukono North), Aisha Kabanda (Mukazi/Butambala), omukulu w’ekika kye Ngeye Sheba Kasujja, omukulu w’ekika ky’effumbe Yusuf Mbirozankya Walusimbi n’abalala
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});