OMUSERIKALE eyakola okunoonyereza mu gw’okulebula omusumba w’e Kkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga, Pr. Robert Kayanja azze mu kkooti n’akkaatiriza ng’amawulire abawawaabirwa ge baamuwa nti baali bakolebwako eby’ekikukujju gaali ga bulimba n’abassaako ogw’okumuwa amawulire amakyamu.
D/IP Clotilda Nandutu omuserikale okuva mu kitundu kya Poliisi y’obukiika kkono, (KMP North) ng’akulembeddwamu omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya y’awadde obujuli mu kkooti y’omulamuzi Adams Byarugaba eya Nateete Lubaga e Mengo n’agamba nti ebyazuulibwa ng’abavubuka bakebereddwa byali tebibamatiza kussa musango ku Pr. Kayanja nti yali abakabasanya.
Yagambye nti ku poliisi kwajjirako Israel Wasswa n’abalala ebeefuula nti balooya b’abakwate era Wasswa yasigala abalondoola nga n’amasimu agamukubira okumubuuza wa okunoonyereza we kutuuse.
Yategeezezza nti, baasookera Mulago, ebyazuulibwa nga bonna balamu ddala olwo Omuwaabi wa Gavumenti n’ayita ffayiro okubawabula era bassibwako gwa kusaalimba kyokka n’alagira bano okuddamu okukeberebwa kwe ku batwala mu ddwaliro lya Poliisi e Nsambya era nga balamu.
Yagambye nti obujulizi obwo bwamulaga nti bano baali bajweteka bigambo ku muntu kwe kubaggulako egy’okwogera kalebule n’okusaalimba.
Ono teyabuuziddwa bibuuzo ludda luwawaabirwa olw’obudde era ne gwongezebwayo okutuusa nga July 15, 2024.
Abawawabirwa mwenda Moses Ssemanobe, Alex Wakamala, Martins Kagolo, Aggrey Kanene, Peter Sserugo, Reagan Ssentongo, Labeeb Kalifah, Israel Wasswa ne Jamir Mwada kigambibwa beekobaana ne balumba kkanisa ya Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako kalebule nti yabatusaako ebikolwa by’ekikukujju ne bakwatibwa kati gwe bawerennemba nagwo