Abasoma Olufalansa e Nabisunsa bafunye Diploma y'ensi yonna

Jul 05, 2024

Abayizi abasoba mu 60 abasoma Olufalansa ku Nabisunsa Girls SSS batikkiddwa dipulooma z’olulimi Olufalansa. Bano basomedde mu pulogulaamu ya Diploma in French Language Studies (DELF) eri wansi wa Minisitule y’ebyenjiriza mu ggwanga lya France era dipulooma zaabwe zikkirizibwa mu nsi yonna.

NewVision Reporter
@NewVision

Abayizi abasoba mu 60 abasoma Olufalansa ku Nabisunsa Girls SSS batikkiddwa dipulooma z’olulimi Olufalansa. Bano basomedde mu pulogulaamu ya Diploma in French Language Studies (DELF) eri wansi wa Minisitule y’ebyenjiriza mu ggwanga lya France era dipulooma zaabwe zikkirizibwa mu nsi yonna.

Abayizi abana abanywedde mu bannaabwe akendo nga bano baafunye obubonero obusukka mu 85% beewangulidde Ipads empya ttuku. Wabula essomero era lyawadde n’abasomesa ebirabo okuli kompyuta n’essente enkalu nga babeebaza olw’okubangula abayizi baabwe.

Abayizi abasinze kuliko; Phillipa Akampa, Angellah Nandudu ne Adrine Ayebazibwe nga bano bali mu ssiniya eyookusatu ate owookuna; Wendy Akampa Muhwezi asoma siniya eyookutaano ng’akola ssaayansi.

Abayizi nga bali n'ebirabo ebibaweereddwa

Abayizi nga bali n'ebirabo ebibaweereddwa

Omukolo gw’amatikkira gwakulembeddwa Eric Touze, akulira ekitongole kya Alliance Francaise mu Kampala. Touze yeewuunyizza engeri abayizi gye boogeramu Olufalansa ng’oyinza okugamba nti lwe lulimi lwabwe olw’obuzaaliranwa. Kino kyaddiridde abayizi bano okuzannya emizannyo n’okutontoma nga byonna babikola mu Lufalansa kyokka nga ne bakalabaalaba b’omukolo (MC) baabadde bayizi nga nabo bafuuwa Lufalansa.

Omukolo era gwetabiddwaako omukulu w’essomero Hajjati Zulaika Nabukeera Kabuye, abasomesa n’abayizi abasoma olulimi luno abasukka mu 150.

Hajjat Nabukeera yagambye nti essomero ly’e Nabisunsa lisomesa ennimi eza wano n’engwira kyokka Olufalansa lwe lusingamu abaana abangi yadde nga si lwangu okuyiga.

Yeebazizza abayizi abatikkiddwa olw’okwewaayo ne balusoma n’agamba nti bagenda kulufunamu nnyo naddala bwe kituuka ku kutambula, okukolera n’okubeera mu mawanga agoogera Olufalansa ate nga mangi nnyo naddala e Bulaaya. Ne wano mu Uganda, Nabukeera yagambye nti omuntu alina dipulooma mu Lufalansa abeera wankizo nnyo ku balala abanoonya emirimu kubanga ennaku zino kumpi buli omu alina ddiguli esooka n’eyookubiri.

“Olanga omulimu gumu abantu ne bajja lukumi nga bonna balina empapula enzito kyokka era tulondamu abalina empapula ez’enkizo nga DELF dipulooma,” bwe yagambye.

Ye Micheal Kushemererwa akulira kiraabu ya DELF e Nabisunsa yagambye nti abayizi bano basobodde okuyita kubanga baagala olulimi ate nga bamalirivu okuluyiga y’ensonga lwaki beewaayo ne basoma n’okwegezaamu buli kiseera.

Touze yakubirizza abantu bonna okuyiga ennimi ez’enjawulo. Yeewuunyisizza abaabaddewo bwe yababuuzizza mu Luganda era n’abala okuva ku nnamba emu ppaka ku kkumi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});