Gavumenti yaakuwandiisa Bannayuganda abawangaalira mu nsi z'ebweru
Aug 23, 2024
OMUWABUZI wa pulezidenti ku nsonga z'ebweru hajji Abby kigozi walusimbi akuutide Bannayuganda abawangaalira mu nsi z'ebweru okujjumbira enteekateeka ey'okwewandiisa
By Musasi Bukedde
Journalist @New Vision
OMUWABUZI wa pulezidenti ku nsonga z'ebweru hajji Abby kigozi walusimbi akuutide Bannayuganda abawangaalira mu nsi z'ebweru okujjumbira enteekateeka ey'okwewandiisa eyateereddwawo gavumenti n'ekigendererwa eky'okumanya omuwendo gwabwe esobole okubateekerateekera.
Ng'asinziira mu lukung'aana lwa bannamawulitr mu Kampala, Walusimbi yategeezezza nti enteekateeka eno eyatuumiddwa ' diaspora mapping ' okusinga eruubiriddwamu okukung’aanya ebirowoozo bya Bannayuganda abali ebweru w’eggwanga ku nsonga z'ebyokulonda olwo kyanguyize gavumenti okubategekera babeerenga nabo basobola okwetaba mu kulonda mu kalulu ka 2026 nga bwe kiri mu mawanga amalala.
Ssempijja Asooka (ku Kkono), Isma Luzige ,hajji Abby Walusimbi Ne Paul Amoru Omubaka Wa Uganda Mu South Africa.
Yannyonnyodde nti baali baatandikako dda ku nteeteeka eno naye ne basanga okusoomoozebwa kwa Bannayuganda naddala abawangaalira mu America nga baboogerera amafuukuule.
" Eno ensonga si ya byabufuzi wabula eyamba mmwe. Nsaba mugijjumbire " Walusimbi bwe yagambye.
Okuwandiisa ku mulundi guno kugenda kutandikira mu mawanga agali mu Southern Africa okuli Botswana, Lesotho, Namibia, South Africa ne Swaziland .
Ssentebe wa NRM mu South Africa Chapter , Isma Luzige yagambye nti bategese olukung’aana gaggadde mu September 2024 mu kibuga ky'e Johannesburg nga pulezidenti Museveni yasuubirwa okubeera omugenyi omukulu.
Mu lukung’aana luno bagenda kukaattiriza obwetaavu bwa Bannayuganda mu mawanga gano okujjumbira okwewandiisa , okukubaganya ebirowoozo ku miziziko egikyalemesa ebyensuubulagana mu mawanga n’ebirala.
Minisita w'ebyokwerinda n'ensonga z'abaazirwanako, Vincent Bamulangaki yagambye nti pulezidenti Museveni bulijjo alaga obwetaavu bw'amawanga okukolera awamu era bw’atyo n’awera nti baakusigala nga banywezezza enkolagana ne South Africa ssaako amawanga amalala gonna.
No Comment