Poliisi eyodde 63 mu kikwekweto ekikoleddwa okufuuza abakyamu e Kira

Sep 03, 2024

ABANTU 63 bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu munisipaali y'e Kira okufuuza abakyamu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU 63 bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu munisipaali y'e Kira okufuuza abakyamu.

Ekikwekweto kino, kikoleddwa mu Kigango, Mbalwa, Musenyu, Buwaate ne Kyaliwajja era ng'abamu ku bano kigambibwa nti baasangiddwa n'enjaga.

Kino kiddiridde okwemulugunya mu batuuze n'abasaabaze olw'obubbi obususse nga muno mulimu okumenya amayumba , n'okusikambula amasimu awamu n'okuteega abantu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti bakyagenda mu maaso n'okufuuza abakyamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});