Kiyimba omugagga wa Ambiance akubye mukazi we embaga makeke!
Sep 07, 2024
Abantu balidde n'okunywa ne basambya bigere, Omugagga Joseph Kiyimba owa Ambiance, bw'abagabudde ku mbaga ye ne mukyala we Annet eyabyafaayo .

NewVision Reporter
@NewVision
Abantu balidde n'okunywa ne basambya bigere, Omugagga Joseph Kiyimba owa Ambiance, bw'abagabudde ku mbaga ye ne mukyala we Annet eyabyafaayo .
Bano bombi baabagattidde ku Uganda Martyrs Shrine Munyonyo eggulo era ne basembereza abagenyi baabwe mu Kigo Gardens mu Makindye Ssabagabo Municipality .
Embaga yasombodde abagagga b'omu Kampala nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe era omubaka wa Namibia mu Uganda ,Godfrey Kirumira, nnyini Freedom City ,John Sebalamu, n'abalala.
Bakiyimba
Omukolo gw'etabiddwako bannabyabufuzi okubadde eyaliko minisita w'ebyokwerinda era nga kati muwabuzi wa Pulezidenti, Vincent Bamulangaki Sempijja n'abalala.
Abayimbi okubadde David Lutalo, Mesach Semakula, Sheebah Kalungi, Stabua Natoola , Abeeka Band n'abalala, be basanyusizza abagenyi.
Ebikumi n'ebikumu by'abantu , balidde ne banywa ne bifikkawo.
Abagole baatambulidde mu mmotoka ekika kya Range Rover ez'ebbeeyi.
Kiyimba yeebazizza nnyina, mukyala we Annet, abaffamire ye ne mikwano gye abamuyanbye ennyo mu kukulaakulana.
No Comment