Eyasibyewo emitwalo 2 nti kafulu mu kuvuga pikipiki mmotoka emutomedde n’emutta
Sep 13, 2024
OMUTEMI w’ennyama y’embizzi eyasibyewo ssente n'owa bodaboda okulaba ani asinga okuvuga pikipiki mmotoka emukoonedde ku mmayiro 8 ku luguudo lw’e Gayaza ng'abuuzaayo katono atuuke we baalaganye n’afiirawo.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTEMI w’ennyama y’embizzi eyasibyewo ssente n'owa bodaboda okulaba ani asinga okuvuga pikipiki mmotoka emukoonedde ku mmayiro 8 ku luguudo lw’e Gayaza ng'abuuzaayo katono atuuke we baalaganye n’afiirawo.
Bbooda Kwe Yabadde Yasensebuse N'eggwaawo.
Ono alese abaana abato n'ow'emyezi ebiri. Joseph Luzige 28, omutemi w’ennyama y’embizzi ku kyalo Luteete A mu Town Council y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso ye yawakanye n’omugoba wa bodaboda ku siteegi eri mu maaso w’abadde atemera ennyama y’embizzi nga bw’atamusobola kubonga pikipiki.
Apollo Ariho kkansala w’ekitundu yategeezezza nti Luzige n’omugoba wa bodaboda buli omu yasimbyewo 20,000/ ng’omuwanguzi yabadde alina kufuna 40,000/=.
Yagambye nti baasimbudde ku ssaawa 7:00 ku palamboti ng’asooka ku kkubo eridda e Magere ewa Bobi Wine we baabadde balina okukoma bakyuke baddeyo.
Bamulekwa Be Yalese.
Yagasseeko nti Luzige yabadde yaakatuuka ku mayiro 8 ku luguudo lw’e Gayaza Loole eyabadde ettisse amayinja we yamukoonedde n’afiirawo.
Omugenzi yaziikiddwa e Buloba, mu Bujuuko mu distulikiti y'e Mpigi era yalese abaana 4 okuli abalongo n'ow'emyezi ebiri.
Yagasseeko n’asaba abavubuka okukomya okuwakanira ebintu bye batalinaamu bumanyirivu era obudde obusinga babumalire ku mirimu gyabwe.
Mmotoka Eyamukoonye Ng'esensebuse Mu Maaso.
No Comment