Ebikwata ku Polof.Kateregga
Oct 20, 2024
Owek. Ssaalongo Al Haji Polof. Badru Ddungu Kateregga ye mutandisi wa Kampala University erina amatabi agawerako mu Uganda, Rwanda ne Ken

NewVision Reporter
@NewVision
lOwek. Ssaalongo Al Haji Polof. Badru Ddungu Kateregga ye mutandisi wa Kampala University erina amatabi agawerako mu Uganda, Rwanda ne Kenya.
lMusajja mufumbo nga mukyala we asinga okumanyibwa ayitib- wa
Nnaalongo Jolly Shubaiha Kateregga era ng’ali ku lukiiko olufuzi olwa Kampala University.
lKateregga mukiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu, era omu ku bayima b’ebintu by’ekika ky’Empologoma ate nga y’atwala ekitongole ky’ettaka mu kika.
lMu August wa 2022, yalondebwa okubeera omusikawutu omukulu mu ggwanga
(Chief Scout of Uganda). Ye ssentebe w’abasikawutu Abasiraamu abeegattira mu kibiina kya National Union Uganda Muslim Scouts (NUUMS), ssentebe wa International Scouts and Guides Fellowship Uganda Chapter, Chief Commissioner Buganda Royal
Scout Movement. lY’omu ku bagolozi b’ebigezo abava ebweru abeebuuzibwako ku bikwata ku by’eddiini n’ebyenjigiriza ku yunivasite y’e Kyambogo era y’omu ku batandisi ba NRM. lYazaalibwa December 4, 1948 nga bazadde be be bagenzi Hajat Aisha Nakato Namusoke ne Hajj Kateregga ab’e Kaabasanda mu disitulikiti y’e Butambala.
lYasomera Kabasanda Primary School, wakati wa 1956 ne 1964, Kaabasanda Junior Secondary School, ne Kibuli Secondary School.
lMu 1970, yaweebwa ekifo mu Makerere Univesity gye yasomera ebyafaayo n’ebyeddiini. Diguli eyookubiri yagifunira mu School of Oriental and African Studies mu University of London. Bwe yava e Bungereza yakomawo
n’atandika okusomesa ebyafaayo ku yunivasite y’e Makerere. 1999 ng’akyali e Makerere yeegatta ne banne ne batandika Kampala University erina ekitebe e Ggaba.
lYalekulira egy’okusomesa e Makerere mu 2014.
No Comment