Eyali munnamawulire wa Ssekabaka Muteesa II aziikwa Lwakuna
May 12, 2025
EYALI munnamawulire wa Ssekabaka Muteesa II, John Sserwanga Ssaalongon Yakuze amanyiddwa nga John Jonnes afudde (mu katono). John Jonnes, abadde mutuuze w’e Nabukalago mu ggombolola y’e Bukoto mu disitulikiti y’e Masaka. Afiiridde ku myaka 102.

NewVision Reporter
@NewVision
EYALI munnamawulire wa Ssekabaka Muteesa II, John Sserwanga Ssaalongon Yakuze amanyiddwa nga John Jonnes afudde (mu katono). John Jonnes, abadde mutuuze w’e Nabukalago mu ggombolola y’e Bukoto mu disitulikiti y’e Masaka. Afiiridde ku myaka 102.
Sserwanga afiiridde mu ddwaaliro ekikulu e Masaka gy’amaze wiiki bbiri nga mugonvun oluvannyuma lw’okulemererwa okulya. Ddereeva we, Pinto Yiga, ate nga waaluganda nga y’abadde amulabirira okuva 2013, yagambye nti, omugenzi amaze wiiki ssatu nga talina ky’alya, n’okutuusa lwe yafudde ku Lwomukaaga.
Waakuziikwa ku Lwakuna e Kikungwe Bukoto Masaka. Enkya ku Lwokubiri omubiri gwe gwakuleetebwa mu maka ge e Bisanje Nabinene asulewo wabeewo n’okusaba, ku Lwokusatu atwalibwe mu maka ge amakulu e Nabukalago Bukoto nayo asuleyo era wabeewo okusaba, ku Lwokuna atwalibwe ku kiggya kyabwe ekikulu e Kikungwe gy‘anaaziikibwa ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.
No Comment