Pakistan ne Buyindi bavudde ku ndagaano

May 12, 2025

OLUTALO wakati wa Buyindi ne Pakistan lusitudde buto nga waakayita essaawa mbalebubazi ng’enjuyi zombi zitudde ne Pulezidenti wa America, Donald Trump ne bakkaanya okuluyimiriza.

NewVision Reporter
@NewVision

OLUTALO wakati wa Buyindi ne Pakistan lusitudde buto nga waakayita essaawa mbale
bubazi ng’enjuyi zombi zitudde ne Pulezidenti wa America, Donald Trump ne bakkaanya okuluyimiriza.
Akatuubagiro kano akaatandikam ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, Buyindi etere ekube
mu bibuga bya Pakistan munaana, ne Pakistan n’ekuba ennyonyi za Buyindi ttaano (5)
lwabadde lutandise okufuuka nnamulanda.
Pakisitan yakubye ebimu ku bitundu bya Buyindi mu Kashmir kye bakaayanira mu kiro
ekyakeesezza Olwomukaaga.
Olw’okwewala olutalo olw’amaanyi wakati w’ensi zino zombi ezirina ne nukiriya, Pulezidenti Trump yasazeewo okubiyingiramu n’ayogera ne Bakatikkiro b’ensi zino zombi mu lukiiko mwe bakkaanyirizza okuyimiriza olutalo era Tramp olwavudde mu lukiiko n’alangirira eri ensi yonna nga bw’akulembeddemu okukkakkanya obunkenke obubaddewo.
Trump era yeeyamye okusigala ng’ayogerezeganya n’ensi zombi, okulaba nga banogera eddagala enkaayana z’ekitundu  kya Kashmir ezimaze emyaka
n’ebisiibo.
Kyokka bwagenze okukya ku Ssande nga zivuga. Ebikompola, mizayiro n’okwesindikira ennyonyi ezeevuga zokka bye byabaddeyo nga buli ggwanga lyagala
okulaga linnaalyo eryanyi.
Buyindi ne Pakistan buli omu anenya munne okuva ku bye bakkaanyizzaako ne Trump.
Omukutu gw’amawulire ogwa AFP gwategeezezza nti okulwanagana kwa Ssande nga bukya okwabadde e Kashmir ne mu bitundu ebiriraanye ensalo z’ensi
 zombi kwafiiriddemu abantu abasukka mu 60, abasukka mu 200 ne bafuna ebisago ssaako abasoba mu 600 okwamuka amayumba gaabwe bawone ekibabu ekyatutte  essaawa nga ssatu (3). Wabula kizibu okumanya kiki amawanga gombi kye gazzaako
 ku by’enzikiriziganya gye baabadde batuuseeko ne Trump oba ng’enessibwamu ekitiibwa oba nedda era obunkenke obw’amaanyi bukyaliwo kuba buli omu atiisatiisa

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});