Bujulidde;BUL erinnye eggere mu ssanye lya Vipers ery’ekikopo
May 12, 2025
LIIGI ya babinywera yafuuse kandanda, Vipers bwe yagenze e Buikwe ku Lwomukaaga ng’esuubira okuwangulirayo ekikopo, yannyogogeddeyo bwe baagikubyo (1-0).

NewVision Reporter
@NewVision
Bright Stars 0-5 NEC
BUL 1-0 Vipers
KCCA 5-0 Wakiso Giants
Kitara 1-0 Maroons
Mbale Heroes 0-3 UPDF
Mbarara City 1-0 Lugazi
URA 5-0 Express
LIIGI ya babinywera yafuuse kandanda, Vipers bwe yagenze e Buikwe ku Lwomukaaga ng’esuubira okuwangulirayo ekikopo, yannyogogeddeyo bwe baagikubyo (1-0).
Vipers yaguyingidde erina enjawulo ya bubonero 7 nga yeetaaga kuwangula BUL yokka okulangirirwa.
Omupiira guno gwabaddeko ne nnannyini Vipers Dr, Lawrence Mulindwa eyagwambalidde ggaalubindi okugulaba obulungiekitali kya bulijjo. Puleesa yeeyongedde, NEC bwe bavuganya ennyo ku kikopo ne Vipers bwe yakubye Bright Stars (5-0) e Lugogo. Ekyasinze okuluma Vipers ye Reagan Kalyowa (BUL) okuteeba mu ddakiika ez’ongerwamu nga 90 kiweddeko.
Mu gwasooka e Kitende baalemagana ggoolo 1-1. Kati Vipers esinga NEC obubonero 4 nga bombi babuzaayo emipiira 2. Mu mbeera eno, Vipers mu mipiira gyombi yeetaagako wiini emu. Ekyalira Kitara ku Lwokusatu nga bwewangula egenda ku bubonero 68 nga NEC ne bwewangula gyombi tebuweza.
Vipers era erina Bright Stars e Kitende mu gusembeyo sso nga NEC ezaako Villa e Wankulukuku ne URA e Lugogo. Mu ngeri y’emu, Wakiso Giants yeegasse ku Bright Stars ne Mbale Heroes okudda mu Big League. Bright Stars yayingira 2013
ate Wakiso yayingira mu
2019.
No Comment