Maama agabye omulambo awalala ku baana be 3 abaafiiridde mu nju
Oct 22, 2024
MAAMA akawang’amudde, abaana be basatu bwe basirikkidde mu muliro e Busega, n’ategeeza abooluganda lwa bba, nti mu ggwanika baggyeyo emirambo ebiri nti omwana omuto si waawaka.
By Vivien Nakitende
Journalist @New Vision
MAAMA akawang’amudde, abaana be basatu bwe basirikkidde mu muliro e Busega, n’ategeeza abooluganda lwa bba, nti mu ggwanika baggyeyo emirambo ebiri nti omwana omuto si waawaka.
Enjega eno yatuuseewo ssaawa 6.00 ez’ekiro ekikeesezza olwa Mmande, mu maka ga Ernest Kato Mugerwa, omubalirizi w’ebitabo agasangibwa mu zooni ya Kitaka e Busega, omuliro bwe gwakutte ennyumba y’ebisenge 2 gy’abadde apangisa, abaana be basatu ne bafiiramu ekiziyiro.
Mbabazi Maama Wa Baana Abaafudde.
Mukyala we Maureen Mbabazi yabadde atambudde okugendako mu ka tawuni e Nateete okugula ebyokulya n’alwayo, kyokka mu kugenda yalese oluggi alusibidde wabweru n’ekkufulu ng’abaana beebase nga ne bba yakomyewo atamidde nga naye yeebase, ng’amawulire g’okufa kw’abaana be gaamusanze akyali eyo.
Olw’okuba amasannyalaze tegaabaddeko , yalese akoleezezza omusubbaawa ng’agutadde okumpi ne firiigi, olwaweddeeko omuliro ne gukwata omufaliso ogwabadde guliraanyewo firiigi neetandika okuggya.
Baliraanwa bagamaba nti, bwe zaatuuse essaawa nga mukaaga ez’ekiro, amasannyalaze gaakomyewo nga mangi nga kirabika gaasanze firiigi nayo eyebye olw’omuliro, Compressor neebaluka omuliro ne gukwata ebintu byonna mu nnyumba.
Omugenzi Moses Muwanguzi gwe baagabye.
Omu ku baana abakulu Alvin Lukwago 12 eyasimattuse, yazuukuse ng’omukka mungi n’akuba enduulu olwo ne taata n’azuukuka.Mu kugezaako okuggula oluggi ate nga ne munda baasibyewo n’ekkufulu nga n’ekisumuluzo we baakitadde mu kiseera ekyo tebategeerawo, kwe kukuba enduulu ne baddayo mu kisenge gye gwabadde tegunnatuuka.
Gideon Katende omu ku batuuze agambye nti, muliraanwa wa Mugerwa , Jackson Wanura, yazuukuse mangu n’atandika okuyita baliraanwa okujja okutaasa, ne baasa endabirwamu omukka gufulume, ne bakuba ekituli mu nyumba basobole okuyingira, ng’abalala bwe bayiwayo amazzi okuzikiza omuliro.
Abaana bonna baasangiddwa mu kisenge nga beebase wansi, nga tebaliiko bisago naye nga bazirise olw’omukka ne batandika okubafulumya, omuwala omu Daniella Nalukwago 10 ne bamuddusa mu kalwaliro e Nateete naye baagenze okutuuka ng’afudde.
Omubaka Mukasa Ng'alambula Ennyumba Omwafiiridde Abaana.
Abalala; Darius Lukwago 6 ne Moses Muwanguzi 3 kabangali ya poliisi yabaddusizza mangu e Mulago, wabula nabo baagenze okutuusibwayo nga bafudde. Alvin Lukwago 12 ne kitaabwe Ernest Kato Mugerwa 38 bbo baasobodde okusimattuka okufa wadde nga baafunye obuvune obutonotono.
Abooluganda lwa Mugerwa abaakedde okunona emirambo gy’abaana mu ggwanika e Mulago baaguddewo ekigwo, maama w’abaana bw’abategeezezza nti omulambo gw’omwana omuto, Moses Muwanguzi 3, bagulekeyo kubanga ye ssi waabwe, yamuzaala walala.
Kikubye bazadde ba Mugerwa encukwe nga beewuunya mukamwana waabwe, ne bategeeza nti n’abaana abalala bebagenda okuziika nabo bandibadde bakeberebwa endagabutonde okukakasa oba nabo baabwe.
Embeera eno ewalirizza Poliisi okukomawo mu maka ga bazadde ba Mugerwa; Jackson Lukwago Ssalongo ne Elizabeth Lukwago Naalongo agasangibwa mu zzooni ya Kabaale e Busega awaakumiddwa olumbe, ne baggyawo omulambo gwa Nalukwago eyafiiridde mu kalwaliro k’ekitundu nga gwo gubadde waka, ne gutwalibwa e Mulago okusooka okwetegereza embeera nga bw’enaabeera.
Abaaana Abaafudde Bwe Baabadde Bafaanana.
Elizabeth Lukwago Nnaalongo Jjajja w’abaana agambye nti, bazzukulu be yabadde nabo ku Ssande ku kkanisa ya Martyrs Church e Busega mu kusaba nga tamanyi nti abalabako ogusemba. Agamba: Muzzukulu wange omuto Moses Muwanguzi 3 agabiddwa nnyina abadde mukwano gwange nnyo, nga buli kiseera ayagala kubeera nange, wabula nnasaba dda maama we baleete omwana tumubatize n’agaana.
Nnatandika okumubasaba okuva ku mwaka gumu, ppaka ku myaka 3 w’afiiridde ng’omukazi yagaana okubatiza omwana , ndowooza ng’amanyi ekyama kye. Kinkoze bubi nnyo okugaba omwana wattu ono mu kufa naye nsaba Mukama bonna abawummuze mirembe.
Jackson Lukwago Ssalongo; abaana battu bafiiridde mu njega awatali ataasa, nnina ennyiike ya maanyi ku mutima ate ne tugattako n’ey’okugaba omu, naye byonna Mukama y’agera, tumusaba bawummule mirembe.
Abakulembeze b’e Lubaga nga bakulembeddwa Omubaka wa Lubaga South, Aloysius Mukasa, beebamu ku baatuuseeko mu kitundu okusaasira abaffamire.
Mukasa yasabye gavumenti okugula ebyuma ebiyamba okuzikiza omuliro biteekebwe mu bitundu, poliisi egendenga okutuuka ng’abatuuze beerwanyeeko ate ne poliisi ennene nga Nateete n’asaba zibeerenga n’ebimotoka ebizikiza omuliro nga bisobola okuyamba abantu mu bwangu, nti era ekiteeso kino yakiwaayo dda mu palamenti.
Yeebazizza omukazi maama w’abaana okubeera omuvumu n’ayatula amazima agakaawa nti, omwana omu ku baafudde si wa mu nnyumba eyo, n’asaba abakyala abalala okubeera abavumu ng’ono okwogeranga amazima, kiggyewo enkaayana mu famire.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza okufa kw’abaana bano, n’ategeeza nti baatandise okunoonyereza. Mu kiseera kino, emirambo gy’abaana bano gikuumiirwa mu ggwanika e Mulago.
No Comment