Amawulire

Obujulizi bwongedde okulumika Sipapa

EBINKUMU ebyasangibwa ku maka ga bannansi ba Sudan nga gamenyeddwa bifanagana ne byengalo za Sipapa,omukugu bweyabuulidde kkooti.

Sipaga ng'ali mu kaguli
By: Margret Zalwango, Journalist @New Vision
EBINKUMU ebyasangibwa ku maka ga bannansi ba Sudan nga gamenyeddwa bifanagana ne byengalo za Sipapa,omukugu bweyabuulidde kkooti.
 
Omujulizi w'oludda oluwaabi wokutaano Pius Caningom abuulidde kkooti bweyazuula mu kwekebejja ebinkumu okuzuula abamenya n'okubba ebintu mu maka g'Abasudani e Bunga.
 
Caningom 60 ,muserikale wa poliisi eyawummula nga mukugu mu kwekebejja ebinkumu ng'akola ne kitongole kya poliisi ekya Criminal Identification wansi wa Directorate of Forensic Services ku kitebe e Naguru.
 
Ono yagambye nti nga September 1,2022 baafuna obujulizi bwebinkumu okuva Ku poliisi e Kabalagala nga baagaala bakebere oba bikwatagana nebimu Ku byali bifuniddwa Ku Bantu okwali Olimu Charles Sipapa eyali agambibwa okumenya ennyunba nokubba ssaako ebya Kualy Steven Ateng ,Awur Makeer, Prisillar Adon,Mary Ateng ,Gloria Opedgui,Tabitha Ajah,Chol Ateng,Jacob Nul abaali babeera mu maka agamenyebwa.
 
Yayongeddeko nti babiwandiika ku foomu ya paliisi nnamba 20 ssaako foomu nnamba 51G gyebasaako ebinkumu bya Sipapa ebya tebirabika bulungu nga byetaaga okutekebwa mu kyuma byongera okuzzebwa olwo byekebejjebwe bulungi.
 
Caningom yagambye nti ebinkumu byeyekebejja kwaliko ekyagyibwa mu maka awazzibwa omusango era engalo eyi yalina enkovu nti kyakwatagana bulungi nengalo ya Sipapa gyebakwata ku komputa nayo eriko enkovu.
 
Okwongera okufuna okwekenenya okulungi, Caningom yagambye nti yakwasa omuserikale omulala Godfrey Friday akebere naye abeeko byazuula.
Friday byeyazuula yabibuulira Caningom kyokka teyabyesigamako okukola lipooti ye.
 
Bano babadde maaaso gomulamuzi Micheal Elubu owa kkooti enkulu mu Kampala Sipapa gyavunaanibwa nemukazi we Shamirah Nakiyemba ngaebawerennemba nemisango 13 egyobwakkondo nokukyanga ssente ezifuniddwa mu bumenyi bwanateeka.
 
Caningom yabadde akulembeddwamu Edward Muhumuza ku lwoludda oluwaabi nagamba nti ngogyeko okukozesa komouta okufuna ebinkumu ,baakozesa nenkola enkadde eyokuteeka engalo mu bwino kibasobozesa okufuna obulungi bannnanyini byenkumu ebibeera biriko ebibuuzo.
 
Muhumuza yabadde ayambibwako Timothy Amerit nabalala ate Sipapa awolerezebwa Susan Wakabala nabalala.
Okuwulira obujulizi kuddamu enkya (lwakubiri).
 
Obujulizi oludda nti Jacob Arok Mayendit munnansi wa Sudan nga August 12,0222 yatunda ettaka lye erisangibwa ku plot 48 ne 49 block 111 Hai Jakokwe mu Class Area e Sudan ku ddoola 380,000 era najja mu Uganda obuguzi gye bwakomekkerezebwa era ssente nebazigulamu ebintu ebyenjawulo.
 
Ku makya nga August 29, 2022 famire eno nga Bali mu maka gaabwe e Buziga Makindye kigambibwa nti bazuukuka nebazuula ng'ebintu byabwe okuli amasimu, laptop nebirala nga byabbiddwa nga nabo teebewulira bulungi.
 
Omu kubafamire Mary Ateng yagenda ku poliisi ngeno bamutwala nebamukebera nekizuulibwa nti yali akubiddwa ebiragalaragala ebiwunza.
Abafamire bonna baakeberebwa era bonna kyazuulwa nga baakubwa ebidagala ebyo.
 
Poliisi yatandika okunonyereza era nerumika amasimu agaali gabbiddwa negazuula e Buwate Close mu maka ga Sipapa ne Nakiyimba era omukyala nakwatibwa. Oluvanyuma ne Sipapa yewaayo ku poliisi era nebavunaanibwa.
 
 
Oludda oluwaabi lugamba nti Sipapa nga August 30,2022 e Nateete ku T.I PRO Audio International Uganda nekigendererwa eky'okubuzabuza ensibuko ya ssente za ddoola emitwalo (USD 200,000) yaziwa Zhen Hua Hong Jie international Trading Co mu bbanka ya Citibank ku ngayagala bamugulire ebyuma ebikuba omuziki ngate akimanyi bulungi ssente zino zabuzzi bwamisango.
 
Bano era kigambibwa nti babuzabuuza ensibuko ya ssente obukadde 110 nga August ,2022 ne mmotoka Jeep Wrangler ngakimanyi era ngalina ensonga okukimanya nti za buzzi bwa misango.
 
Emisango kigambibwa nti baagizza nga August ,2022 mu maka gaabwe e Buwate Najera
Tags: