EMMOTOKA za takisi eziwera 178 ze zaakwatiddwa ku Mande kwokka mu kikwekweto ekyasoose okukolebwa ku mmotoka za takisi eziri mu mbeera embi mu Kampala.
Ku zino, 53 zakwatiddwa mu Kampala Metropolitan East, ate mu KMP South ne bakwata 62 ate mu KMP North ne bayoola 63.
Endala 72 zaabadde tezinnaba kwekebejjebwa . Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti , kumpi emmotoka ku buli kikumi ezekebejjeddwa, 97 ku zzo, ziganyegenya.
Annyonnyodde nti bakebera amataala, ebyuma ebyazongerwako, emipiira, emitto munda , body, n'ebirala .