Poliisi y'ebidduka ng'essa mu nkola ebiragiro bya minisita w'ebyentambula, Fred Byamukama, batandise ebikwekweto eby'ennaku 100 okulwanyisa emmotoka enkadde ku kkubo mu Kampala.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti, ekikwekweto kino kitandise olwaleero era emmotoka za takisi ezisaabaza abantu, era nga kugendera ddala ennaku 100
Agambye nti ezimu ku mmotoka zino, enzigi bazisibisa miguwa, zinywera amafuta mu budomola, siteeringi baziwanirira na nkoba, tezirina mataala, emipiira gyaggwaako, entebe nvundu n'ebirala.
Alabudde baddereeva ne bannyini zo, okuzitwala zirongoosebwe oba si ekyo, zaakukwatibwa n'abazivuga, bavunaanibwe.
Kananura agasseeko nti minisitule okwekebejja emmotoka zino ezisaabaza abantu kwe yakoze emabegako, yakizudde ng'emmotoka 60 ku buli 100, ziri mu mbeera mbi ddala era tezikkiriizibwa ku nguudo.