Amawulire

Takisi 178 ezaali mu mbeera embi ze zakwatibwa ku Mande kwokka

EMMOTOKA za takisi eziwera 178 ze zaakwatiddwa ku Mande kwokka mu kikwekweto ekyasoose okukolebwa ku mmotoka za takisi eziri mu mbeera embi mu Kampala.

Emu ku Takisi ezaayolebwa mu kikweto
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

EMMOTOKA za takisi eziwera 178 ze zaakwatiddwa ku Mande kwokka mu kikwekweto ekyasoose okukolebwa ku mmotoka za takisi eziri mu mbeera embi mu Kampala.

Ku zino, 53 zakwatiddwa mu Kampala Metropolitan East, ate mu KMP South ne bakwata 62 ate mu KMP North ne bayoola 63.

Ku zino, 106 zaakebeddwa abakugu abakugu mu poliisi n'abava mu minisitule y'ebyentambula ne bakizuula nga ziri mu mbeera mbi nnyo ddala era ne ziweebwa bannyinizo okuzidaabiriza nti n'oluvannyuma abakugu baddemu bazekeebejje nga tezinnazzibwa ku nguudo.

Endala  72 zaabadde tezinnaba kwekebejjebwa . Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti , kumpi emmotoka ku buli kikumi ezekebejjeddwa, 97 ku zzo, ziganyegenya.

Annyonnyodde nti bakebera amataala, ebyuma ebyazongerwako, emipiira, emitto munda , body, n'ebirala .

Tags:
takisi
Kampala Metropolitan