OBUKADDE 100 busondeddwa buyambeko mu kusasula ffiizi z’abaana abawala abatalina mwasirizi nga bano babeera mu maka agayitibwa Grace Villa agasangibwa ku kasozi Makanga mu disitulikiti y’e Kabale.
Amaka gano galimu abaana abasoba mu 400 ng’abamu bamulekwa ate abalala baasuulibwawo bazadde baabwe.
Amaka gano gaatandikibwawo Ruth Ndyabahika. Ayambibwako abazirakisa abenjawulo n'akakiiko akafuzi okuli ne maama we Rev. Canon. Grace Nyonyozi Ndyabahika. Buli mwaka baweerera abaana 215 nga babasaasaanyizaako obukadde 125.

Abaana nga bazina amazina g'Abakiga
Abalala kwabaddeko; eyali ssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda ne mukyala we Joselyn Rugunda, Dr. Miria Matembe n’omwami we, Prof. Rev. Ssenyonyi ne mukyala we Dr. Ruth Ssenyonyi eyakulirako Mothers Union n’abalala.
Era kwabaddeko n’abasuubuzi abatutumufu n’ebitongole ebyenjawulo. Bangi baawaddeyo ssente ate abalala beeyamye ebitabo, paadi n’okusasula amazzi n’amasannyalaze.
Ye omusuubuzi Manish Varsani yawaddeyo obukadde 51 ng’ajaguza emyaka 51 pulezidenti Museveni n’omukyala we Maama Janet Museveni gye bamaze mu bufumbo obutukuvu.
Oluvannyuma abagenyi baalidde n’okunywa nga bwe banyumirwa amazina n’ennyimba z’abaana ba Grace Villa.