Ejjoogo lya America;America; Ennyonyi yaayo enkessi eyingidde obwengula bwa Uganda ennaku ssatu

Dec 01, 2024

NewVision Reporter
@NewVision

ENNYONYI ya America enkessi yeesozze obwengula bwa Uganda awatali lukusa n’eketta okumala ennaku ssatu n’ebulawo.
Ennyonyi eno ekika kya Bombardier Challenger 604 ng’eriko ennamba N9191, yasoose kuyingira bwengula bwa Uganda omwezi guno nga 14.
Yeetoolodde Kasese ne disitulikiti y’e Bundibugyo n’emalira e Beni mu Democratic Republic of Congo (DRC).
Yalabiddwa kyokka ne watabaawo kikolebwa ng’abavunaanyizibwa balowooza biwedde kyokka baagyekanze ekomyewo enkeera nga 15.
Yakoze nga luli ne yeetooloola ebitundu bye bimu era n’edda gye yavudde ng’ekung’aanyizza abaagibaddemu kye baagala.
Ekyewuunyisa, mu kulowooza nti ebyo byaggwa ate ennyonyi y’emu yakomyewo wiiki eno nga November 26 ne yeetooloola ebitundu bye bimu awo ebibuuzo we byatandikidde, Gavumenti n’esalawo ensonga okuzongerayo.
Omwogezi wa minisitule ya Uganda ey’ebyokwerinda, Brig. Gen. Felix Kulayigye yakakasizza eby’ennyonyi eyo n’ategeeza nti, ensonga yatwaliddwa nga nkulu ddala n’eyongerwayo mu bakwatibwako okulaga obutali bumativu.
Ennyonyi yonna okuyingira eggwanga eritali lyayo, esooka kufuna lukusa n’eraga ebigenderwa byayo, ya wa, b’ani abagirimu, biki ebirimu n’ebirala olwo n’ekkirizibwa okukka mu nsi eyo oba okugiyitamu bw’ebeera eyitamu buyisi kubanga era erina okuweebwa obukuumi.
Ennyonyi bw’ebeera nkessi ate kisukka.
Kyategeerekese nti ennyonyi eyo yabadde eva ku Djibouti awali ekitebe ky’eggye lya America era ng’eggwanga eryo lipangisa mpangise nga liyita mu kitongole kyayo eky’ebyokwerinda ekya Defence Department.
Abakugu balowooza nti obukessi obwakoleddwa buyinza okubaamu ebifaananyi ebyakubiddwa nga biweerezebwa butereevu ku bitebe by’ekitongole kya America ekya NASA ekikola ku by’obwengula.
Ekitongole ekyo kirina amatabi mu ssaza ly’e Florida, mu kibuga Houston mu ssaza ly’e Texas n’awalala.
Essaawa eno ebigendererwa by’ennyonyi enkessi okuyingira Uganda nga terina lukusa by’ebimu ku bikyanoonyerezebwako.
AMERICA ETANGAAZIZZA KU NNYONYI YAAYO ENKESSI MU UGANDA
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa omwogezi w’ekitongole ky’eggye lya America ekya United States Africa Command (AFRICOM), ekyaweereddwaako olupapula lwa New Vision nalwo olufulumizibwa kkampuni ya Vision Group, kyatangaazizza nti, ennyonyi eyo teyagenderedde kujja Uganda wabula yabuze bubuzi mu bwengula n’ewaba n’ejjayo mu bukyamu.
Ekiwandiiko ekyasaasaanyiziddwa ekitebe kya Gavumenti ya America mu Uganda, kyagasseekonti kituufu ennyonyi eyo yayiseeko mu Uganda naye si ku mulimu gwa bukessi nga bwe kirowoozebwa kubanga America n’amawanga okuli Uganda gakolaganira wamu mu bintu bingi ebigagatta ng’abooluganda omuli ebyokwerinda, obujjanjabi, okusomesa abaana n’ebirala.
Ekiwandiiko kyamalirizza kitegeeza nti, America essaawa eno eri mu kwogerezeganya n’ekitongole kya Civial Aviation Authority (CAA) ekivunaanyizibwa ku by’entambula z’ennyonyi mu Uganda n’eggye lya UPDF okulaba nti, ennyonyi zaabwe (eza America) teziddamu kubulwa makubo ng’eno bwe yakoze mu butanwa n’ejja gye yabadde terina kugenda.
AMERIKA YASOOSE KUSABA LUKUSA N’EKKIRIZIBWA KYOKKA ATE
OLWAGIWEEREDDWA SI LWE
YAKOZESEZZA
Ekyewuunyisa wabula ate mu kusooka, waliwo amawulire agalaga nti omwezi oguwedde, ofiisi ya America ey’ebyekijaasi etuula mu Uganda yasabye olukusa nti waliwo ennyonyi yaabwe gye baagala eyite mu ggwanga lino egende mu DRC n’ekkirizibwa.
Ennyonyi eno egambibwa nti eggye lya UPDF lyagikkiriza ng’olukusa olwo lwagiweebwa Chief of Joint Staff, Maj. Gen. Jack Bakasumba ng’egenda kutwala bantu.
Kyabadde kirowoozebwa nti ennyonyi Bombardier eyogerwako yeeyo eyaweereddwa olukusa kyokka ate ebyuma bya ‘radar’ bwe byetegerezza, ne mu DRC teyasse wansi kuggyamu bantu nga bwe kyabadde kitegeezeddwa ekyayongedde okubuusabuusa ebigendererwa byayo.
Ebiseera ebisinga ennyonyi ezikozesebwa mu bukessi, ku migongo zaazo zibeerako ebintu ebiri ng’ebisaniya, biyite ‘satellite dish’ ebiziyamba okuketta ewala ku ttaka ne mu bwengula.
Eno wabula teyabadde nabyo, yabadde ng’ez’abasaabaze ezaabulijjo ng’oyinza okulowooza nti yabadde ku bya kutambuza bantu so ng’ate si bwe kyabadde ekyongera okuleetawo ebibuuzo n’abantu okugamba nti lino lyabadde jjoogo lya America lyennyini okuyingira obwengula bw’ensi endala nga tesoose kufuna lukusa ng’amateeka bwe galagira

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});