Katikkiro Mayiga atenderezza Omuyimbi Fred Ssebatta olw'okutumbula olulimi ng'ayita mu nnyimba
Dec 09, 2024
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza omuyimbi Lord Fred Ssebatta olw’okubeera eky’okulabirako eri abayimbi mu ggwanga n’abasaba bulijjo okumuyigirako

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza omuyimbi Lord Fred Ssebatta olw’okubeera eky’okulabirako eri abayimbi mu ggwanga n’abasaba bulijjo okumuyigirako
Mayiga agambye nti emyaka Ssebatta gyayimbidde,amulabyemu ebintu bitaano ebikulu ebiyambye okutumbula okuyimba ate n’okuzimba eggwanga;
Katikkiro ne Fred Ssebatta
Mu kuyita mu kuyimba, Mayiga agambye nti Ssebatta ayambye okuzimba obuwangwa bw’Abaganda ng’ayigiriza abantu ebintu eby’enjawulo nga bwebirina okukolebwa mu buwangwa bwaffe..“Azimbye olulimi Oluganda. Ennaku zino tusosowaza Oluganda era tukubiriza abantu bayige ennimi zaabwe n’obuwangwa bwaabwe. Ekyewunyisa bwosanga abagwira n'obagamba nti tomanyi buwangwa bwo,bakunyooma nnyo ate bwobanyumiza obuwangwa bwo,bakwesimisa,”Mayiga bwagambye.
Bino bibadde Bulange-Mmengo,Omuyimbi Ssebatta gyakiise okusisinkana Katikkiro okumumanyisa enteekateeka z’ekivvulu kye kyatuumye ’42 of Lord Fred Ssebatta’ ekigenda okubeerawo nga December 13,2024 ku Serena Hotel mu Kampala.
Family ya Fred Sebatta, abayimbi ba Kadongo kamu nga bali ne Katikkiro e Mengo
Okuyigiriza n’okusomesa abantu ebintu eby’enjawulo nakyo akikoze. Wano Mayiga anokoddeyo oluyimba Ddole y’omwana,mwayigiriza abantu ssemaka omutuufu kyalina okukola mu kutambuza amaka.
Ebirala byanokoddeyo ku Ssebatta kwe kubeera nti ennyimba ze zikoze kinene mu kuwummuza abantu ate n’okuzimba eggwanga nga bangi baziggyemu eby’okuyiga ne bakyusa obulamu bwabwe.
Ssebatta yebazizza Mayiga olw’omukisa ogumuwereddwa okujja e Bulange- Mmengo okumusisinkana era n’amutegeza nga bwakozeseza okuyimba kuno okuli okutereeza amaka,obulamu bw’abantu.
Ssebatta awerekeddwako bayimbi banne abawereko okuli Matia,Luyimba,Harriet Nakanwagi Ssanyu,Lydia Nabawanuka (amanyiddwa nga Lydia Jazmine), Weseal n’abalala.
No Comment