Sumayar Babiye,20, eyakwattiddwa ku by'okuwamba abaana awuniikirizza poliisi bw'ategeezezza nti waliwo abanene abamutuma abaana n'ekigendererwa eky'okubasadaaka.
Ono okukwatibwa kyaddiridde okubuzaawo Gorret Nakiwala, 8, omuyizi ku ssomero lya Delight Primary, okuva mu maka ga bazadde be agasangibwa e Ssazi-Lulongo ng'amulimbye nti yali amutwala basaale bonna ku muzikiti gw'e Kikaaya.
Bino byaliwo nga November,16, 2024, kyokka okukkakkana ng'amuwadde owa Boda eyamuvuga ne boolekera ebitundu bye Mpigi.
Nakiwala yanoonyezebwa okumala wiiki bbiri nga talabikako okutuusa lwe baamusanga mu disitulikiti ye Ssembabule.
Wano olwakimanya nti Poliisi yali emunoonya, Babirye yaddukira mu bitundu by'e Mutungo mu Divisoni ye Nakawa mu Kampala, oluvannyuma gye yakwattiddwa.
Poliisi egamba nti baamusanze n'omwana omulala gwe yabadde abbye era wakati mu kukunyizibwa Poliisi n'ategeeza nti waliwo abamutuma abaana bano okubasadaaka.
Yagambye nti wadde ng'olumu abadde akola mu bbaala, ebiseera ebisinga abadde agenda n'abaako w'asaba emirimu gy'obwa yaaya asobole okufuna abaana b'okutwalira abagagga.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire ategeezezza nti Babirye wakusimbibwa mu kkooti e Wakiso yeewozeeko ku misango gy'okuwamba n'okukukusa abaana.
Ono era alabudde abazadde okwongera okukuuma abaana baabwe era n'asaba abalina amawulire agayinza okubatuusa ku bantu abalala abenyigira mu bikolwa bino babategeeze mu kyama basobole okukwatibwa.