Abakyala beefuze empaka z'omulimi asinga

Dec 12, 2024

ABAKYALA beerisizza nkuuli mu mpaka z’Omulimi Asinga ez’omwaka guno bwe batutte ebifo by’enkizo ne kavu wa bukadde 100.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKYALA beerisizza nkuuli mu mpaka z’Omulimi Asinga ez’omwaka guno bwe batutte ebifo by’enkizo ne kavu wa bukadde 100.

Rachel Naigaga Kibwiika ne bba Polof. Paul Kibwiika aba Emerge Integrated Farm Ltd e Luweero be baakutte ekisooka mu mpaka z’Omulimi Asinga 2025 ne batwala obukadde 50.

Abawanguzi nga bakwasibwa engule zaabwe.

Abawanguzi nga bakwasibwa engule zaabwe.

Addirirwa Brenda Tusiime okuva e mu kibuga kya Fort Portal n’atwala obukadde 30 ate Meridah Nandudu owa Bayaaya Speciality Coffee okuva e Mbale n’akwata ekyokusatu n’atwala obukadde 20.

Abawanguzi abalala kuliko Abas Ssekajja Sekajja Agro Farms Limited e Mukono, John Kokas Omiat ne Joyce Omiat e Bukedea, Emmanuella Oroma okuva e Nebbi, Winfred Janny Oyella okuva mu disitulikiti ya Isingiro, Tom Okao mu kibuga Lira, Allen Atuhaire Tibishangwa okuva e Bushenyi ne Apollo Gabavuga.

Ebibiina by’obwegassi bye bivuganyizza ku mutendera ogw’enjawulo ng’ebibiina bisatu okuli; National Union of Coffee Agribusiness and Farm Enterprises (NUCAFE), Dairy Farmers Network (DAFAN) ne Elgon Cooperative union bye byawangudde.

 

Dr. Emma Naluyima ku lw’abalamuzi agambye nti empaka zino zongedde okufulumya abalimi n’abalunzi abalungi kwossa okuzimba obulimi n’obulunzi mu ggwanga ng’abantu ab’enjawulo bagenda ku ffaamu zaabwe okubayigirako.

Guno mulundi gwa 10 nga kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde etegeka empaka zino ng’abawanguzi 111 beebakalondebwa ne ssente eziri mu kawumbi kamu n’obukadde obusoba mu 35o ne zigabirwa abawanguzi okuyita mu byuma ebyongera okukulaakulanya ffaamu zaabwe.

Empaka zino zitegekebwa kkampuni ya Vision Group ne zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni y’ennyonyi eya KLM Royal Dutch Airlines, bbanka ya dfcu ne Koudijs BV ng’abawanguzi bano bonna bagenda kutwalibwa ku lugendo lw’okulambula abalimi n’abalunzi e Budaaki.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});