Poliisi ekyabuuliriza ku ttemu eryakoleddwa ku muvubuka e Mawugulu e Ntebe
Jan 07, 2025
POLIISI e Katabi ekyabuuliriza ku ttemu mwe battidde Elvis Sewakiryanga mu zzooni ya Mawugulu e Ntebe.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI e Katabi ekyabuuliriza ku ttemu mwe battidde Elvis Sewakiryanga mu zzooni ya Mawugulu e Ntebe.
Omugenzi asangiddwa n'ebiwundu ebiwerako nga balumiriza muganda we Ssennyange n'abantu abalala, okumutulugunya ne bamutta nga bamulumiriza okubba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onnyago agambye nti, bayigga abali emabega w'ekikolwa kino.
Poliisi era ekyabuuliriza ku kuttibwa kwa David Sempebwa mu zzooni ya St Ann e Kabowa .
Related Articles
No Comment