Abayizi bakoonodde diguli e MakerereAbayizi Makerere
Jan 14, 2025
YUNIVASITE y’e Makerere yatandise amatikkira ag’omulundi ogw’e 75 agagenda okukulungula ennaku 5. Abayizzi 13,658 be bagenda okutikkirwa diguli ne dipolooma mu masomo ag'enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision
YUNIVASITE y’e Makerere yatandise amatikkira ag’omulundi ogw’e 75 agagenda okukulungula ennaku 5. Abayizzi 13,658 be bagenda okutikkirwa diguli ne dipolooma mu masomo ag'enjawulo.
Akulira yunivasite eno, Polof. Barnabas Nawangwe yagambye nti ku bayizi 13,658 abagenda okutikkirwa, 143 abaafunye diguli eyookusatu, 1,813 yaakubiri, 11454 baatikkiddwa n’abayizi 243 baafunye dipulooma. Abalenzi be basinze obungi (53 ku 100) ate abawala ne bakola 47 ku 100.
Minisita w’Ebyenjigiriza bya pulayimale, Joyce Moriku Kaducu eyakiikiridde minisita w’Ebyejigiriza n’Emizannyo, Janet Museveni Kataha yasiimye abazadde olw’okuweerera abaana n’ategeeza nti Gavunenti nneetegefu okutumbula omutindo gw’Ebyenjigiriza. Yasabye n’abaatikiddwa okubeera abakozi ab’amaanyi baleme kunyooma mirimu.
Cansala wa Makerere omuggya, Dr. Crispus Kiyonga yakubirizza abaafunye diguli okuba n’empisa beekuume n’akawuka ka ssiriimu kuba keeriisa enkuuli. Yasabye abaatiikiddwa beeyambise yintaneeti n’emikutu emigattabantu okweyongera okuyiga ebintu ebitali bimu babeereko eby’embala bye bayiiya mu bitundu byabwe.
Omusomesa w’essomo ly’Eddiini eribangula abasomesa, Moses Batibwe Sserwadda, y’omu ku bayizi abaatikkiddwa diguli eyookusatu mu busomesa.
Yagambye ebyeddiini yabisomera mu University of Cape Town e South Africa gye yava n’adda e Makerere eranga kati awezezza emyaka 25 ng’asomesa.
N’omukulu w’essomero lya Makerere College, Dr. Martin Muyingo naye yeekoonodde diguli eyookusatu mu byenjigiriza ng’essira yalitadde nnyo ku by’endowooza, entegeera n’ensalawo y’abantu entuufu.
N’akulira ababangula abayizi mu by’amateeka ga bizinensi ku ttabi lya Makerere e Nakawa erya MUBS, Dr. Gwokyalya Waliya naye yatikkiddwa diguli eyookusatu mu byamateeka
No Comment