Endoliito z’ettaka mu disitulikiti y’e Kyankwazi zisitudde minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja okugendayo okuzigonjoola. Alagidde Poliisi okukwata omugagga agambibwa okuliisa abasenze akakanja ku ttaka eriweza yiika 600 nga omugagga yamenyako essomero lya Gavumenti n’essinzizo.