Dr. Mayanja yeekokkodde obubbi bw’ettaka e Kassanda
Jan 21, 2025
MINISITA w’Ebyettaka, Dr Sam Mayanja alaze embeera ey’obunkenke ku ttaka gye yasanze mu disitulikiti ssatu; Kassanda, Kyankwanzi ne Kiboga gy’agamba nti waliyo abantu ab’olubatu abakozesa eryanyi okugoba abantu ku bibanja byabwe ng’abakulembeze baayo, poliisi ne ba RDC batunula.

NewVision Reporter
@NewVision
MINISITA w’Ebyettaka, Dr Sam Mayanja alaze embeera ey’obunkenke ku ttaka gye yasanze mu disitulikiti ssatu; Kassanda, Kyankwanzi ne Kiboga gy’agamba nti waliyo abantu ab’olubatu abakozesa eryanyi okugoba abantu ku bibanja byabwe ng’abakulembeze baayo, poliisi ne ba RDC batunula.
Dr. Mayanja yasinzidde ku pulogulaamu 'Mugobansonga Special’ ku Bukedde Fa Ma ku Ssande ne yeekokkola ekibbattaka n'awera okufaafaagana n'abeeyita abagagga abatulugunya abantu.
EKIBUUZO: Minisita, wabadde e Kyankwanzi, Kassanda n’e Kiboga. Biki bye wazudde ku bantu abanyigirizibwa ku ttaka?
MINISITA MAYANJA: Bwe natuuse e Kyankwanzi, kyanzigye enviiri ku mutwe era ne ntegeeza abantu nti kisaana kusaba Pulezidenti akozese akamu ku buwaayiro bwa Ssemateeka, Kyankwanzi agifuge butereevu ng’eri wansi wa State House, atereeze embeera!
Era nawulidde abantu nga boogerera waggulu nti, “Yee agitwale kuba twetamiddwa okutuntuzibwa abantu ab’olubatu.” Tewali abataasa wadde abakulembeze be baakeera enkya ne balonda kababe abo Gavumenti, be yassaayo.
Waliwo embeera efaanagana mu ngeri abantu gye bagobwa ku ttaka mu Kassanda, Kiboga ne Kyankwanzi. Omuntu omu yekka bwati (Moses Madoi) ate nga n’obwannannyini bwe tebukakasibwanga, asomba bakifeesi ku ttaka n’agoba abantu naye nga disitulikiti erimu RDC n’akakiiko ke ak’ebyokwerinda okuli; GISO, ISO, PISO n’abalala ssaako abakulembeze abalala bonna ne basirika ne batunula ng’omusajja atigomya abantu emisana n’ekiro.
Madoi ajja n’agamba nti wano wonna wange ne bakifeesi ne bakuba abantu ne basaanyaawo amayumba awatali abakuba ku mukono! Nneewuunya okubaawo akabinja k’abamenyi b’amateeka ne bakawa n’erinnya nti bakifeesi naye Gavumenti n’ebaleka!
Waliyo omukyala yali yasimba kalittunsi we, naye basajja ba Madoi baamutemye ne bamwokyamu amanda ensawo 200 nga tewali abagambako ng’abakulembeze bonna basirise. Abasajja bano banoze emmwaanyi, bakungudde kasooli w’abantu ne babitwala nga tewali abagambako!
Pulezidenti Museveni yagamba nti ekisinze okubonyaabonya abantu ku ttaka kwe kuba nti obukulembeze bwa Gavumenti z’ebitundu tebukola. Buli we ntuuka, abakulembeze abo mbagugumbula okubajjukiza nti balina okukola.
Kye bang’ambye nti oli bw’addukira ku poliisi, nga bamugamba nti ensonga ezo zaatutama, teziriimu misango gya maanyi. Mu ngeri y’emu, n’abawaabi ba Gavumenti tebakyakola, kuba beekobaana n’ababbi b’ettaka ate ne basibisa abeebibanja abeemulugunya.
Omulamuzi bw’aba ayagadde ng’ata oweekibanja ku kakalu ka kkooti bw’aba ayagadde n’amusiba ate n’aleka omubbi ng’akolera ku ttaka. Ssaawuliddeyo mutuuze ayogera ku bakulembeze nga ssentebe wa LC5 oba LC III n’abalala era twagenze okuvaayo nga tukutte abamu ku bakifeesi, Madoi b’akozesa ate ye n’adduka kuba yakwatibwako mu lumu ku nkung’aana ze twakolayo ng’era akaabya abantu ku ttaka. Madoi oyo ayogera kimu nti ettaka lirye alina n’ekyapa, naye ffe si kye tugamba.
Ssemateeka agamba nti oweekibanja alina obukuumi ku kibanja kye, k’abe ku liizi, mailo oba freehold. Kati ggwe eky’okuba n’ekyapa tekitegeeza nti olina obuyinza obugoba oweekibanja, kuba alina obukuumi obumuweebwa Ssemateeka.
N’ekiragiro kya Pulezidenti kigamba nti singa kkooti eyisa ekiragiro okugoba abeebibanja ku ttaka, sooka kutwalira kakiiko ka byakwerinda aka disitulikiti katunule mu nsonga eyo era bwe kibasukkako, bajulira mu baminisita b’Ebyettaka.
Nkubira kkooti omulanga, akulira abawaabi ba Gavumenti, minisita atwala ba RDC batunule mu bantu baabwe abali mu bitundu bino balabe eky’okubakolera kuba tebakyakola.
Ate e Kyankwanzi waliyo abantu bataano bokka ababonyaabonya disitulikiti omuli mukyala wa Aronda Nyakayirima, Safari, Dr. Turyahikayo, Ntambala n’omulala ayitibwa Muvanganyize.
Ng’enda kuwandiikira abakwatibwako
No Comment