TRUMP alumbye South Africa n’agirabula okugimma obuyambi olwa Pulezidenti waayo okutandika okuggya ettaka ku Bazungu aliddize Abaddugavu bannansi. Donald Trump okutabuka kyaddiridde Pulezidenti wa South Africa, Cyril Ramaphosa okuwangula akalulu mu June wa 2024 nga mu manifesito ye yateekamu ensonga y’okuddiza Abaddugavu
ettaka erudde ng’ebaluma.
Yabasuubiza okuliggya ku Bazungu alibaddize kyokka abadde akyali mu nteekateeka, Trump eyalayidde wiiki bbiri eziyise okufuga America ekisanja ekyokubiri
we yatuukidde n’amwekiika. Omwezi oguwedde, Ramaphosa
yatadde omukono ku kiwandiiko ekikkiriza Gavumenti ye okuggya ettaka ku Bazungu nga tebaliyiriddwa liddizibwe Abaddugavu.
Yamaze kukkaanya ne Palamenti y’eggwanga lye ejjuddemu ab’ekibiina kye ekya ANC.
Agamba nti Abazungu baalifuna mu mankwetu ate nga bannansi bali bubi era eky’obutabaliyirira yakikoze mu bwetaavu obuliwo okukola obwenkanya.
Ettaka lye yasookeddeko mu kiwandiiko lyeryo eriri awo nga tekuli kiriko nga waliwo Abazungu bannannyiniryo kyokka nga balina lingi erisigadde tebalina na kye
balikolerako.
Eddala bannannyini lyo baalisiba ssengenge ne balyerabira ne gye liri nga bali bbize ku ttaka eddala gye balimira, okulunda ne fakitole gye bakola emirimu egibamalawo ne famire zaabwe.
Bino olwagudde mu matu ga Trump n’alayira bw’agenda okusala South Africa obuyambi yeerye enkuta.
“South Africa eri mu kutwala ttaka ly’abantu ng’eyita mu kubatulugunya,” Trump bwe
yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Truth Social ku Ssande n’agattako nti, agenda kugisala obuyambi bwonna okutuusa ng’okunoonyereza okwetaagisa ku nsonga eyo kukoleddwa n’azuula ekituufu ekisembayo.
Okusinziira ku mawulire ga The Guardian, Ramaphosa yatabukidde Trump n’amuddamu nti, obuyambi obwo si bwa buwaze basobola okubaawo nga tebabulina nti ne bwe baafunye omwaka oguwedde, byabadde bitundu 17 ku ssente zonna ze baakozesezza
okulwanyisa siriimu e South Africa.
Yamujjukizza nti etteeka eryakayisibwa eggwanga lye eriri mu kawaayiro ka ‘Expropriation Act’ teririimu kuwamba ttaka ly’abantu wabula okugabana ettaka
mu bwenkanya.
ENGERI ABAZUNGU GYE BAAFUNA ETTAKA LY’ABADDUGAVU E SOUTH AFRICA
Kati emyaka 31 okuva Nelson Mandela lwe yafunisa South Africa obwetwaze mu 1994 n’abeera Pulezidenti waalyo omuddugavu asoose kyokka abazungu ne basigala
nga be bannannyini ttaka lye bezza okutandika mu mwaka gwa 1652 gy’emyaka 373 kati.
Abazungu abaasooka okugendayo be ba Dutch East India Company ne basenga ku Table Bay kati eyitibwa Cape Town) ne batandika obusuubuzi n’amawanga amalala, obulimi n’obulunzi ekyabawaliriza okwezza ettaka oluvannyuma ne
bafuga South Africa nga eyaabwe. Ettaka lyakozesebwa abazungu ne basenda Abaddugavu.
Kino kyaliwo ne mu mawanga amalala nga Zimbabwe abazungu ne batwala ettaka okutuuka eyali Pulezidenti waalyo, omugenzi Robert Mugabe lwe yawamba obuyinza
mu 1980 n’aleeta ekiteeso ky’okuliddiza abaddugavu.