EKIKONDE kyanyoose mu lukiiko lw’okulondoola entambula y’emirimu gya gavumenti e Kazo mu munisipaali y’e Nansana, ssentebe wa NRM mu Nansana bw’ayise abakulembeze mu kitundu kino abeekibogwe ekyabatabudde ne bamubuukira okumugajambula olukiiko ne luyiika.
Olukiiko lwayitiddwa RDC wa Nansana, Charles Lwanga ssaako abakungu ba munisipaali y’e Nansana ku ssomero lya Kazo Mixed Primary School okuwa abatuuze omwagaanya okubuuza ebikwata ku mpeereza za gavumenti.
Ssentebe wa NRM mu munisipaali y’e Nansana, Ali Kyagulanyi olwakutte akazindaalo kwe kutegeeza abatuuze obutaddamu kulonda abantu ab’ekibogwe mu bukulembeze. “Olaba RDC akuba alusiisira wano okulondoola entambula y’emiriimu kyokka ng’abakulembeze be mwalonda tebalina kye bakola noolwekyo 2026 temuddamu okukola ensobi nga mutuweereza abakulembezeab’ekibogwe kuba tebalina kye
bayambye kusakira bitundu byabwe,” Kyagulanyi bwe yayogedde.
Ebigambo bino byasiikudde abakulembeze naddala ab’ekibiina kya NUP era kkansala w’ekitundu kino ku munisipaali y’e Nansana, Daniel Biyinzika kwe kulumba Kyagulanyi okumusikako akazindaalo nti ebigambo bye bivvoola abakulembeze
abalondebwa abantu.
Embeera yasajjuse abakulembeze abalala bwe beegasse ku Biyinzika okuteeka Kyagulanyi ku nninga yeetonde kyokka ne yeerema okukkakkana nga bagwanganye
mu malaka era abatuuze ne babuna emiwabo. Poliisi yayitiddwa okukkakkanya
embeera era n’olukiiko we lwakomye. Wabula nga terunnayiika, abatuuze mu muluka gwa Kazo central basiimye gavumenti olw’okubatuusaako ssente za PDM ze baganyuddwamu. Ate RDC Lwanga yakukkulumidde abakulembeze okweyisa mu ngeri
etasaanidde mu maaso g’abatuuze n’abasaba okuwang’ana ekitiibwa.