POLIISI y'e Luweero enoonyereza ku basse omu ku baabadde bayiikuula entaana omwaziikwa omuzungu nga bagenderera okutwala ebisigalirabye.
Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Sande ku kyalo Kakoola mu muluka gw'e Sekamuli mu ggombolola y'e Bamunaanika mu Luweero.
Kyaddiridde abantu okuwulira abasima entaana omwaziikwa omuzungu Richard Hogoson 78 eyaziikibwa e Kakoola nga Feb 4 omwaka guno oluvannyuma lw'okufiira e Mulago ne beekungaanya okulaba ogubadde.
Omugenzi yali bba wa Regina Nakanwagi omutuuze mu kitundu kino.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twineamazima yategeezezza nti abatuuze baakutte abaabadde basimula entaana ne babalirika emiggo kyokka nti poliisi we yatuukidde okubataasa omu eyategeereseeeko erya Mpagi yafudde ng'atuusibwa mu ddwaliro e Bamunaanika.
Poliisi yakutte abantu babiri okunoonyereza ku ttemu nga bwekunya n''abalala olw'okutaataganya eddembe ly'abafu
Twineamazima yategeezezza nti kkeesi y'omuzungu baabadde bagisimudde kyokka omulambo baagusanzeemu