OBUSIRAAMU tebujaguza lunaku lw’abaagalana, kyokka waliwo Abasiraamu abamu
abalukuza n’abamu ne batuuka n’okukyawa abaagalwa baabwe olw’obutabawa birabo.
Mu Hadith emu, Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, “Omuntu asinga obulungi mu mmwe ye muntu ayagala abantu be.’’ Nga kino kitegeeza nti, omuntu yenna alina okwagala abantu be buli lunaku ekiseera kyonna.
Mu Busiraamu, buli lunaku luba lw’abaagalana era Abasiraamu abatuufu batonera abantu
baabwe obulabo buli lunaku okubalaga obumativu n’okusiima gye bali.
Omubaka wa Allah, Muhammad (S.A.W) yasomesa abantu okuwaηηana ebirabo eri
omuntu oyo gw’oba oyagala, nga tekikoma ku mwami na
mukyala bokka. yo yenna akuza valentayini mu bugenderevu afuna omu-sango, ate alwerekereza afuna empeera ewa Allah.
Aisha (R.A) yagamba nti, Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, omuntu yenna ateekawo ekintu kyonna mu ddiini nga Nabbi teyakisomesaako kya kumuddizibwa
ku lw’enkomerero afune omusango.
Olunaku lwa valentayini lulimu obubi bungi okugeza:
Okutambuza obwonoonefu anti abantu abamu beerabira nti bafumbo ne bafunayo abaagalwa abalala ebbali ne babeera nabo ku lunaku olwo ng’ekikolwa kino kibeera
kikyamu kubanga kya bwenzi.
Olunaku luno luteekawo enjawukana mu baagalana kubanga omusajja oba omukazi ayinza obutasobola kutona kirabo eri omuntu we ne kibaawula nga munne amunyiigidde.
Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, “Singa Omusiraamu n’Omusiraamu balwanagana bombi ba mu muliro’’, nga kino kitegeeza nti, Abasiraamu baliwo kwagalanan buli kadde.