Maama wa Ssuuna Ben aziikiddwa ; yagudde kigwo omusaayi ne gwefukuta!
Feb 21, 2025
Ebikumi n'ebikumu by'abakungubazi, byeyiye e Kitabaazi mu ggombolola y'e Kimaanya e Masaka, okukungubagira maama w’omukozi wa Vision Group etwala ne Bukedde Fa Ma, Ssuuna Ben.

NewVision Reporter
@NewVision
Ebikumi n'ebikumu by'abakungubazi, byeyiye e Kitabaazi mu ggombolola y'e Kimaanya e Masaka, okukungubagira maama w’omukozi wa Vision Group etwala ne Bukedde Fa Ma, Ssuuna Ben.
Maama prossy Namata, yafudde eggulo ku Lwokuna kumakya oluvannyuma lw'okugwa ekigwo omusaayi ne gwetukuta.
Ono abadde amanyiddwa ennyo nga Maama Kayondo, aziikiddwa leero e Nzizi Nkoni mu disitulikiti y'e Lwengo.
Abantu ab'enjawulo, okuli abayimbi, abakozi ku Radio, ttivvi, tikitokers, bannabitone n'abakubi b'ebidongo, beetabye mu kuziika kuno.
Okukungubaga kwetabiddwako minisita e Mmengo, Noah Kiyimba, omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Masaka, Justine Nammeere, n'abalala.
Ssuuna ne baganda be, batenderezza emirimu emirungi, maama waabwe gy'abakozeemu, okubakuza nga bakozi, bampisa era nga bawa abantu ekitiibwa nti era baakumusubwa nnyo.
No Comment