Ssuuna Ben yeekokkodde Kamoga ow'ettaka mu kuziika nnyina

Feb 24, 2025

"Maama bw’otuuka mu maaso ga Katonda, nga tonnabaako kirala ky’omugamba mutegeeze nti ku nsi oleseeyo omusajja Kamoga ajoonyesa omwana wange.” 

NewVision Reporter
@NewVision

OMUKOZI wa Vision Group amanyiddwa ennyo nga Ssuuna Ben owebinyaanyanyaanya, yeekkokkodde Hajji Kamoga owa Kamoga Properties Ltd. mu kuziika nnyina Proscovia Namata (Mukyala Kayondo), gwe yasabye nti, “ Maama bw’otuuka mu maaso ga Katonda, nga tonnabaako kirala ky’omugamba mutegeeze nti ku nsi oleseeyo omusajja Kamoga ajoonyesa omwana wange.” 

Bino yabyogeredde Kibaazi- Kimaanya mu kibuga Masaka mu lumbe lwa nnyina eyafudde mu kiro ekyakeesa Olwokuna lwa wiiki ewedde.

Omugenzi bw'abadde afaanana.

Omugenzi bw'abadde afaanana.

Ssuuna Ben yategeezezza nti embeera y’okwagala okukumpanya ekyapa ennyumba ye kw’etudde olwakolebwa omwaka oguwedde yamuyisa bubi nnyo era nga Maama we y’amugumya n’amusaba nti nga bw'atakyaliwo amuyambe abitegeeze Katonda.

Okuziika kuno kwetabiddwako abakulembeze, abayimbi, abakozi ba Vision Group n’abantu abalala bangi okuva e Masaka ne Kyotera.

Katikkiro Mayiga mu bubaka bwe obwetikkiddwa Noah Kiyimba omwogezi w’Obwakabaka, yasiimye omugenzi olw’okugunjula abaana obulungi omuli ne Suuna Ben ekimuyambye okusigala nga muntu mukkakkamu newakubadde nga mumanyifu mu ggwanga ekintu ekitatera kusangika. 
 
Ono yeeyamye nti Obwakabaka bwakwongera okuwagira bannabitone nga buyita mu nkola ez’enjawulo.

Ate Maneja wa Bukedde leediyo, Bukedde Fa Ma Embuutikizi, Ronald Ssebutiko nga ye yatuusizza obubaka bwa Kkampuni ya Vision Group, yasaasidde Ssuuna okufiirwa mukwano gwe asinga.

Gyaviira Masiiko amanyiddwa nga DJ Matsiko eyayogedde ku bakozi ba leediyo abaatandika ne Ssuuna e Masaka yatenderezza omugenzi okuba omugunjuzi omulungi ate omugassi ekibayambyenga okugonjoola enjawukana wakati waabwe mu mirembe kumpi buli lwe wabaddewo okusoowagana.

Mukyala Kayondo yaziikiddwa e Nzizi – Kingo mu disitulikiti y’e Lwengo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});