NG’EGGWANGA likyusa okuva ku nnamba z’emmotoka enkadde ezibadde zeeyambisibwa okumala emyaka 100 okudda ku mpya, abantu balaze ebyetaaga okukolwako mu bwangu.
Kkampuni ya Russia eya Joint Stock Company, Global Security (JSC) ye yaweebwa kontulak ti ey’emyaka 10 ey’okuteeka obuuma obulondoola ebidduka ku nnamba

Ennamba ya digito eyassiddwa ku ppikippiki.
BYOLINA OKWETEGEREZA
lPpiki n’emmotoka ezirina ebipapula by’okusasula engassi z’obuliwo tezisobola kufuna nnamba mpya, nga tezinnaba kusasula bbanja.
lEnkola tegumiikiriza bikolwa bya buli bwa nguzi ebirimu okukola ku kidduka kyonna ekiriko ensonga etamulunguluddwa bulungi.
lAbantu abaagala okufuna enamba empya basabibwa okusooka okukola ku nsonga ezo. Ebidduka era birina okuba nga biri mu mbeera nnungi awamu n’obutabo obulag obwannannyini obukakasa nti ekidduka kisaana okubeera ku luguudo
era nga n’ebiwandiiko ebikikwatako bituufu.
lAmannya g’omuntu asaba ennamba empya ey’ekidduka galina okuba nga gakwatagana n’agali k nnamba y’ekidduka enkadde. lEnnamba empya tezijja kufaanagana n’enkadde eziri ku bidduka kuba bwe baba bazigaba bakwata yonna gye basanze.
lAbaagala okufuna nnamba eziri mu mannya gaabwe ge babeera basazeewo ng’abantu, balina okusasula ebisale ebya bulijjo ebyateekebwawo Gavumenti. Singa omuntu asasula ng’omuntu ng’obudde buyiseeko abeera alina okusasula engassi ya 50,000/-.
lEnnamba empya ezigabibwa okuli eza mmotoka ne ppiki zaakolebwa nga bagoberera omutindo gw’ensi yonna. Gavumenti yatongoza omutendera
ogwokusatu nga January 6, n’ekiruubirirwa ky’okukola ku mmotoka eziyingizibwa mu ggwanga omulundi ogusooka. Ssente z’okuwandiisa ku nsalo e Malaba ne Mutukula ziri 714,300\-, okusinziira ku minisitule y’ebyentambula.
EKIRUUBIRIRWA MU NKOLA ENO
Ekiruubirirwa mu nkola eno kwe kutereeza ebyentambula n’okulwanyisa obumeny bw’amateeka obweyambisa ppiki n’emmotoka.
OSABA OTYA
Minisitule y’ebyenguudo n’entambula yategeezezza nti ekiti ky’emmotoka eziyingira mu ggwanga omulundi ogusoose, zeezo ezirina okusasula emisolo ku mwalo e Mombasa oba Dar Salaam.
Emmotoka z’ekika kino zisobola okuyingira eggwanga ng’emmotoka eteereddwako ennamba empya we zituukira ku booda era nga zirina n’obutabo obuzoogerako. Ekyetaagisa kyokka kwe kugenda ku mutimbagano gwa portal.itms.ug amangu
ddala ng’omaze okusasula emisolo. Minisitule era agamba ekiti kino kikwata ku bantu abaleeta emmotoka mu bonded warehouses nga tezinnasasula musolo.
Oluvannyuma lw’okusasula emisolo n’okubalirira byonna ebyetaagibwa ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya URA nga mwotwalidde n’okuwandiisa
mmotoka okukolebwa mu minisitule y’ebyentambula, ogenda ku mutimbagano gwa items.ug n’osaba okuweebwa ennamba empya. Oluvannyuma lw’okukakasa,
kasitooma alonda obudde n’ekifo w’ayagala okumuteerako ennamba empya ku mmotoka era ne bagimuleetera.