Ssuuna Ben n'abawagizi be bakungubagidde mu ndongo

Feb 25, 2025

Abawagizi ba Ssuuna Ben owa Bukedde Fa Ma leediyo Embuutikizi, baamulaze omukwano ne bamukubagiza okufiirwa nnyina.

NewVision Reporter
@NewVision

Abawagizi ba Ssuuna Ben owa Bukedde Fa Ma leediyo Embuutikizi, baamulaze omukwano ne bamukubagiza okufiirwa nnyina.

 Ku Lwokutaano, ge gaabadde amaziika ga Mukyala Kayondo (Prossy Namata), maama wa Ssuuna Ben wabula yafudde mu bwangu nga n’ekivvulu ky’endongo y’ekinyaanyanyaanya, kyabadde kimaze okutegekebwa nga kya Lwamukaaga.

Ssuuna Ben Ng'atabula Endongo Y'ekinyaanyaanya.

Ssuuna Ben Ng'atabula Endongo Y'ekinyaanyaanya.

Obutayiwa bawagizi be, olwavudde mu kuziika, Ssuuna Ben ne yeesogga Makutano Gardens e Nansana ku Lwomukaaga n’akungubaga ne nnamungi w’omuntu. 

Bannabitone ab’enjawulo okwabadde abayimbi, bakazannyirizi, ba Dj okuli Omutaka Ssebwato Julius n’abalala be baasooseewo okusanyusa abantu.

Abantu Ng'endongo Ya Ssuuna Ben Ebatembye

Abantu Ng'endongo Ya Ssuuna Ben Ebatembye

Abadigize baalaze nti bazze beetegese era baleese ebikozesebwa okunyumirwa endongo y’ebinyaanyanyaanya okwabadde amatabi g’emiti n’essanja ng’abataaleese, waabaddewo fuso eyaleeteddwa abatagesi nga buli ayingira bamukwangirawo ettabi oba essanja.

Omuwagizi Wa Arsenal Ng’anyumirwa Ne Munne

Omuwagizi Wa Arsenal Ng’anyumirwa Ne Munne

Ku ssaawa 6:00 ez’ekiro Ssuuna, Mbaziira Tonny n’abamu ku beng'anda baalinnye ku siteegi mu bujoozi obuddugavu okwabadde ebigambo ebijaguza obulamu bw’omugenzi, mukyala Kayondo ng’era bali mu bigere ne bayimba oluyimba lwa Walumbe Zzaaya olwa Paul Kafeero era Ssuuna n’ategeeza nti olunaku aluwaddeyo eri nnyina kuba ku lunaku lwe lumu, gaabadde amazaalibwa ge ag’emyaka 70. 

Abantu Nga Banyumirwa Endongo.

Abantu Nga Banyumirwa Endongo.

Abayimbi abalala okwabadde Pasita Wilson Bugembe, baasanyusizza abantu. Ssuuna yakubye endongo abantu ne babinnuka okutuusa enkeera ku Ssande era poliisi ye yabagobye badde awaka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});