AMAGYE ga UPDF agalwanyisa envuba embi ku myalo gy’e Kayunga nga gali wamu n’abakulembeze ba disitulikiti n’abantu baabulijjo bakoze bulungi bwansi nga gagenda mu maaso n’ebikujjuko bya Tarehe sita.
Lt. Daniel Kamuntu aduumira amagye agalwanyisa envuba embi ku myalo gy’e Kayunga agambye nti bulungi bwansi bamutadde ku mwalo gw’e Kawongo ku nnyanja Kyoga kubanga gwe gusinga obunene mu disitulikiti.
Yakubirizza abantu okwagala ensi yaabwe nga bakola ebyo ebigitwala mu maaso. Ssentebe wa disitulikiti y’e Kayunga asaasidde abantu ababeera ku mwalo guno olw’okukosebwa okubooga kw’amazzi era nga mu kiseera kino amayumba mangi gakyali mu mazzi