ABABAKA okuva mu Busoga bawakanyizza ekya minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi okulagira mizaani z’ebikajjo okuvaawo ne bagamba nti ziyamba ababirima.
Baakulembeddwamu John Teira omubaka mu palamenti owa Bugabula North mu disitulikiti y’e Kamuli ne Aggrey Bagiire owa Bunya West mu disitulikiti y’e Mayuge nga boogerako eri bassentebe b’ebyalo n’ab’oku muluka mu maka ga Bagiire ng’era ye ssentebe wa NRM mu Mayuge, ku kyalo Iwawu mu Ggombolola y’e Bulamaji. Ekigendererwa ky’olukiiko kye ky’okutema empenda NRM bw’esobola okudda engulu mu Mayuge mu kulonda kw’omwaka ogujja. Teira agamba nti minisita okulagira
mizaani z’ebikajjo mu bitundu eby’enjawulo okuvaawo kikyamu n’agamba nti ziyamba abalimi. Ate Bagiire gamba nti mizaani zitaasa abalimi b’ebikajjo okubitwala mu disitulikiti ezeewala.
Bagiire agamba nti okulwanagana n’obutakwatagana wakati w’Abayindi bannannyini makampuni ga ssukaali wamu n’abalimi b’ebikajjo kulina okukoma kubanga buli omu yeetaaga munne.