Amawulire

Ababaka mu Busoga bawakanyizza eky’okuggyawo minzaani z’ebikajjo

ABABAKA okuva mu Busoga bawakanyizza ekya minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi okulagira mizaani z’ebikajjo okuvaawo ne  bagamba nti ziyamba ababirima.

Bagiire
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABABAKA okuva mu Busoga bawakanyizza ekya minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi okulagira mizaani z’ebikajjo okuvaawo ne  bagamba nti ziyamba ababirima.
Baakulembeddwamu John Teira  omubaka mu palamenti owa Bugabula North mu disitulikiti y’e Kamuli ne Aggrey Bagiire owa Bunya West mu disitulikiti y’e Mayuge nga boogerako eri bassentebe b’ebyalo n’ab’oku muluka mu maka ga Bagiire ng’era ye ssentebe wa NRM mu Mayuge, ku kyalo Iwawu mu Ggombolola y’e Bulamaji. Ekigendererwa  ky’olukiiko kye ky’okutema empenda NRM bw’esobola okudda engulu  mu Mayuge mu kulonda  kw’omwaka ogujja. Teira agamba nti minisita okulagira
mizaani z’ebikajjo mu bitundu eby’enjawulo okuvaawo kikyamu  n’agamba nti ziyamba abalimi. Ate Bagiire gamba nti mizaani zitaasa abalimi b’ebikajjo okubitwala mu disitulikiti ezeewala.
Bagiire agamba nti okulwanagana n’obutakwatagana wakati w’Abayindi bannannyini makampuni ga ssukaali wamu n’abalimi b’ebikajjo kulina okukoma kubanga buli omu yeetaaga munne.