"Ssuuna yakkirizza nti omwana wuwe era n’ebya DNA gye baamutwala okumukebeza tebeetaaga kumanya byava mu musaayi."
Mar 06, 2025
EBY’ENKAAYANA za Ssuuna Ben ow’ebinyaanyanyaanya ne muninkini we, Mary Nambwayo ku nnyumba yaabwe eya kalina biwedde bwe biti.

NewVision Reporter
@NewVision
EBY’ENKAAYANA za Ssuuna Ben ow’ebinyaanyanyaanya ne muninkini we, Mary Nambwayo ku nnyumba yaabwe eya kalina biwedde bwe biti.
Ssuuna Ng’akutte Kamoga (ku Ddyo) Mu Ngalo. Wakati Ye Kt.
Ssuuna eyasisinkanye ne Hajji Mohammad Kamoga atunda ettaka e Lubowa ku lw’e Ntebe mu Kampala eggulo ne bakkaanya akyuse ekyapa ekiriko amannya ga Ssuuna n’aga Nambwayo kidde mu ga Ssuuna yekka era bonna ne bateekako emikono.
Enteeseganya ezaawomeddwaamu omutwe omutegesi w’ebivvulu, Musa Kavuma (KT) nga ye yaleese Ssuuna ewa Kamoga era Nambwayo yakkirizza okuwaayo ekyapa kidde ewa Ssuuna ku bukwakkulizo buno wammanga;
- Ebyapa bibadde bibiri ng’ettaka lye baasooka okugula kuliko Ssuuna Ben yekka nga Nambwayo tannassaako ssente ze. Ekyo tekigenda kusazibwamu.
- Ekyapa ekyokubiri nga Nambwayo ataddeko ssente ze balyoke bateekeko erinnya lye, kigenda kukyusibwa Nambwayo akiveeko kusigaleko Ssuuna.
- Kamoga yawadde Nambwayo ettaka lya bukadde 50.
- Ssuuna agenda kuzimbira Nambwayo ennyumba ku ttaka eryo nga ne Nambwayo ayongerako ky’asobodde.
- Ssuuna agenda kugira apangisiza Nambwayo ennyumba gy’abeeramu n’omwana.
- Ssuuna yakkirizza nti omwana wa Nambwayo ayitibwa Ssuuna, wuwe era n’ebya DNA gye baamutwala okumukebeza tebeetaaga kumanya byava mu musaayi.
- Buli omu yeetondedde munne olw’okumwogerera amafuukuule ne basaba n’abawagizi baabwe okusirikako.
- Ssuuna yeetondedde Kamoga olw’okukosa erinnya lya kkampuni ye etunda ettaka ng’ajoogerera amafuukuule
- Nambwayo ne Ssuuna beetondedde abawagizi baabwe be balumizza emitwe okuva omwaka oguwedde bino lwe byatandika Ssuuna yakkirizza okulabirira omwana waabwe.
Musa Kavuma Amanyiddwa Nga Kt Events Ng'ayogera.
Eby'akayiringu n'olukannyala
Nga byonna biwedde, Ssuuna yabuuziddwa akayiringu kye kiki era y’ani. Yazzeemu nti yali tagamba Nambwayo. Ate olukannyala kyo kye kiki? Yazzeemu nti nakyo yali tategeeza Nambwayo ng’abantu bwe bazze babitema.
Agamba nti ebyo bigambo bya mu nnyimba za kadongokamu ne firimu za Ssaalongo Jjingo mw’azze abiggya n’abyogera abantu ne balowooza nti agamba munne.
Nambwayo yazze ebiyengeyenge
Nambwayo yakaabye bwe yajjukidde bwe yayitibwa akayiringu kyokka ng’akimuyita alina n’omwana we omulenzi. Awo Ssuuna yamwetondedde n’amusirisa abaabaddewo ne bafa enseko n’enduulu ne bakuba ne bakkaanya nti awali abaagalana.....
Nambwayo Bw'afaanana.
Kamoga yagambye nti olutalo lwabwe lwava ku kubaguza ttaka nga abaagalana kyokka laavu n’etabuka ekyabaviirako okukaayana ne babimuyingizaamu ng’ate bakkaanya amannya gaabwe gombi gabeere ku kyapa.
Byabadde bigenda mu maaso nga ne balooya ba Kusingura Tindyebwa and Co. Advocates, okwabadde Bryan Tindyebwa ne Fred Mugisha babaga ekiwandiiko Nambwayo, Ssuuna ne Kamoga kwe baatadde emikono okumalawo
enkaayana.
Kamoga agenda kulambuza Nambwayo ettaka eryamuweereddwa ku lw’e Gayaza olwo Ssuuna atandikirewo okuyiwa ‘matiriyo’ w’okuzimbisa ennyumba ye n’omwana we.
Ssuuna Ben Bw'afaanana.
No Comment