Engeri Ssuuna Ben gye yanunudde kalina ye
Mar 07, 2025
Ssuuna Ben gye yafunyeemu kalina ye ng’ekyapa kiri mu mannya ge yekka ng’aga Nambwayo gagyiddwaako, yabadde nga ya ffirimu za Katandika butandisi ku Bukedde TV.

NewVision Reporter
@NewVision
Ssuuna Ben gye yafunyeemu kalina ye ng’ekyapa kiri mu mannya ge yekka ng’aga Nambwayo gagyiddwaako, yabadde nga ya ffirimu za Katandika butandisi ku Bukedde TV.
Okusika omuguwa n’okukkaanya nga bwe basazaamu ebyakkaanyizibwako nga ne bwino tannakala, kye kyabadde mu lukiiko olwatabaganyizza ‘abaagalana’ ababiri.
Kalina Ya Suuna Ben evaako emberereza.
Mu ngeri y’obunkenke ng’abaabadde mu lukiiko buli omu asirise amaaso agasimbye Ssuuna ne Nambwayo, omukyala oyo yalaze ekiddako.
Enteeseganya zaatandikako mwaka guwedde mu ofiisi ya Mohammad Kamoga owa Kamoga Property Consultants eyabaguza ettaka. Kw’olwo zaalimu abantu bana abakkaanya Ssuuna azimbire Nambwayo ennyumba olwo ye (Nambwayo) ave mu kalina.
Enkaayana zaabwe, Kamoga agamba zaava ku bo kumugulako ttaka nga abaagalana kyokka laavu bwe yatabuka, Ssuuna n’agamba nti munne ku kyapa yagendako mu bukyamu.
Enteeseganya enkadde, ebyavaamu Ssuuna yabigaana.
Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, Kamoga ng’amaze okusaala Ejjuma, yakubidde Nambwayo amuyitiremu bwe bitambula.
Olwo Musa Kavuma (KT), yabadde amaze okutegeeza Kamoga nti, ensonga zeetaaga zikwatibwe kisajjakikulu ziggweere mu kisiibo kino.
Nga Nambwayo amaze okukkaanya ku bigenda okuteesebwako, Kavuma naye yakkaanyizza ne Ssuuna ku binaateesebwako. Baasisinkanye ku Lwokusatu wadde nga babadde bamaze ebbanga nga teboogera.
Enteeseganya zaakutte akati omwavudde Nambwayo okussaawo obukwak-kulizo nga obusinga tebukkirizika!Olukiiko olwabaddemu abantu omunaana, lwesibye okumala ebbanga nga Nambwayo alumye ejjiiko ku by’okuva mu kalina.
Ssuuna Ben, Nambwayo, Kamoga n'abalala abaabadde mu nteeseganya,.
Abaabadde mu nteeseganya kuliko; balooya basatu aba Kusingura Tindyebwa and Co. Advo-cates, Kamoga, Kavuma, Ssuuna, Nambwayo ne munnamawulire Josephat Sseguya.
OBUKWAKKULIZO NAMBWAYO BWE YASOOSE OKUWA SSUUNA
1. Kalina agivaamu asoose kufuna nnyumba, Ssuuna gy’amuzimbidde ku ttaka Kamoga lye yamuwadde e Gayaza.
2. Bw’agivaamu, Ssuuna talina kugissaamu mukazi mulala.
3. Ennyumba Ssuuna gy’anaamuyambako okuzimba kuba ne Nambwayo alina okugiteekako ssente ze, si ya Ssuuna.
4. Akasembayo kakkaanyiziddwaako mangu nti Ssuuna ennyumba si yiye kyokka nnamba bbiri yagigaanye n’asiita n’ebigere nga bwe twakolanga mu buto nga tutibula.
Nnamba emu, yabadde mu ggiraasi nti, ennyumba tesobola kuggwa mu wiiki bbiri.Nambwayo yalaze ekiddako n’agamba nti, waakweyiiya amalirize ennyumba ye nga Ssuuna eyabadde atandise n’okumwenyaamu nga batunuuliganye, amukwatiddeko.
Wakati mu bumwenyumwenyu bw’abaagalana bano, Kamoga we yaleetedde ebyapa byabwe buli omu n’assa omukono ku kikye ate Nambwayo n’assaako omulala ng’ava ku kya Ssuuna engalo ne zikubwa.
Nambwayo yakwasizza Ssuuna omwana waabwe kyokka mwana n’amugaana n’akaaba. Nnyina w’omwana yamuwooyezzawooyezza n’amukkiriza ne bakkaanya n’okuggyayo omusango gw’obutamulabirira (omwana) mu kkooti n’ebyokumukebeza omusaayi gwe baatwala mu ddwaaliro.
Abaalabye ku mwana baagambye nti afaanana Ssuuna ne mukyala Kayondo, nnyina wa Ssuuna (awummule mirembe).
Mu kuziika, Ssuuna yatuma nnyina Mukyala Kayondo (mugenzi) nti; Bw’otuuka ewa Katonda, mung’ambire nti nnina ebintawaanya ku kalina yange era onnwanirire.’
Abagoberera ensonga bawanuuza nti, omuntu bw’atuula ku malaalo ga nnyina n’amukaabira ennaku, asobola okumukolera ky’ayagala. Abawagizi ba Ssuuna bwe baawanuuzizza nga bamulabye afuna ekyapa.
No Comment